TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaaluse olukwe okuwamba omuyizi basimattise okuttibwa

Abaaluse olukwe okuwamba omuyizi basimattise okuttibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

EMBEERA etabuse e Kawempe poliisi n'ewalirizibwa okukuba amasasi mu bbanga okugumbulula abasuubuzi n’abatuuze ababadde batwalira amateeka mu ngalo ku mukazi n’omusajja be baateberezza okuwamba omwana ow’emyaka 16.

Luka1 703x422

Nansubuga ne Buyinza nga bawulubadde oluvannyuma lw’okubakuba.

Kaliti Buyinza 29 omuvuzi wa bodaboda e Bwaise ne Mariam Nansubuga 27 omutuuze w’e Kaleerwe be bawonye okugajambulwa abatuuze b’e Kawempe ku ttaano oluvannyuma lw’okubateebereza okwagala okuwamba omwana Shifrah Nansubuga gwe baalimbye okutwala e Matugga afune omukisa.

Nansubuga eyasimattuse ng’ono abeera ne nnyina Hajarah Zawedde e Jinja Kalooli, yategeezezza nti mukulu we yabadde amutumye mu katale ku ttaano amugulire capati ng’eno abawamba gye baamusanze ne bamugamba addeyo awaka aleete essimu z’abazadde be oba owooluganda lwe, bamutwale e Matugga gye bagenda okumuweera omukisa.

Yagambye nti baasoose kumutwala mu nkuubo z’ekizimbe ekimu mu Kawempe gye baabadde baagala okumukubira kalifoomu eyabadde mu kacupa.

Yakoze olukujjukujju nabasaba addeyo awaka aleete amasimu nga bwe baabadde bamugambye.

Nansubuga (omwana) ng’ono muyizi asoma S3 ku Royal College e Kawempe, yazzeeyo awaka , n’atemya ku bakulu be Rehema Nambajjwe ne Arafat abaamuwerekeddeko ng’atwala amasimu. Baasanze Nansubuga ne Buyinza bali ku pikipiki bamulinze beeyongereyo.

Wano we baabakwatidde ne bababuuza gye baabadde batwala muto waabwe.

Baatandise okukuba enduulu eyasombodde abantu okwabadde ne poliisi y’e Kawempe. Nga bali ku poliisi, Nansubuga (omuwambi) yeefudde azirise.

Buyinza yakkirizza okuba n’ekigendererwa eky’okuwamba omwana, n’agamba nti Nansubuga ye yabadde amanyi ekifo ekituufu gye baabadde batwala omuwala.

Ronald Wotwali DPC w’e Kawempe,yakubirizza abazadde n’abantu bonna okwekuuma obulungi eri emize egya kiwamba n’ekittabakazi mu ggwanga.

Yagambye nti abakwate bagguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD:REF: 36/05/06/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze