TOP

Engeri Kitagenda gye yeetooloola Kaweesi

By Stuart Yiga

Added 7th June 2018

Ensonda zirumiriza nti abatta Kaweesi kuliko omuntu gwe baali bamanyiganye naye obulungi eyayimiriza mmotoka ye gwe bateebereza nti ye yali Kitagenda.

Kitagenda1 703x422

Kitagenda ne Kaweesi

Abbey Kitagenda yasooka kwetooloola mugenzi Andrew Felix Kaweesi nga baasooka kuba baamukwano ne bamanyagana okuviira ddala mu kiseera nga bombi tebannayingira poliisi.

Ensonda zirumiriza nti abatta Kaweesi kuliko omuntu gwe baali bamanyiganye naye obulungi eyayimiriza mmotoka ye gwe bateebereza nti ye yali Kitagenda.

Kigambibwa nti omuntu eyayimiriza mmotoka yatambula agisemberera era Kaweesi yassa endabirwamu okugezaako okwogera naye.

Mu kiseera kino abatemu we baamukubira amasasi ne babuukira pikipiki ne babulawo nga tewali abeetegerezza.

Omukazi Christine Mbabazi Muhoza, eyali muninkini wa Kaweesi naye alumirizibwa okubeera mu lukwe luno, yalumiriza nti mu lukiiko olwatuula ku Kati Kati e Lugogo mu kiro ekyakeesa olunaku Kaweesi lwe yattibwa, Kitagenda yalwetabamu.

FAMIRE YA KITAGENDA EYOGEDDE KU NKOLAGANA YE NE KAWEESI

Fatuma Namatovu, ng’ono mwannyina wa Kitagenda, avuddeyo n’annyonnyola ku nkolagana y’omugenzi Kaweesi ne Kitagenda gye yayogeddeko nti yava dda nga bano bombi tebannayingira buserikale.

Namatovu ow’e Kanjuki mu disitulikiti y’e Kayunga era annyonnyola bwati: Ffe tusibuka Masaka e Ndolo, Kannabulemu, wadde nnawulidde abaategeezezza nti tuli b’e Jinja ekyo si kituufu.

Enkolagana ey’amaanyi wakati wa Kitagenda ne Kaweesi, yatandikira wa mwannyinaze Dr. Hajji Moses Sseguya e Bweyogerere bano bombi we baasisinkana okuva olwo omukwano gwabwe tegwadda mabega.

Mu famire, Kitagenda twali twamukazaako lya Wembley kuba yali yaakamala okusoma e Katikamu SDA, n’ayingirirawo ekitongole kya Wembley ekyali kikulirwa Brig. Elly Kayanja mu kiseera ekyo.

 maka ga bazadde ba itagenda Amaka ga bazadde ba Kitagenda

 

Kitaffe omugenzi Dr. Alhaji Hamis Kitagenda yatuzaala abaana 60, mu bamaama ba njawulo nga Kitagenda baamuzaala omu yekka.

Ekibi abasinga ku ffe, taata tetwamulabako kuba yabuzibwa ku mulembe gwa Iddi Amin n’attibwa mu 1979.

Kitagenda yasooka kuzimba Bweyogerere kyokka n’afuna obutakkaanya ne muliraanwa we kwe kusalawo okusenguka n’agula poloti e Manyangwa n’azimba nga gy’abeera ne famire ye.

Ffe nga aba famire tetulina mutawaana ne Kitagenda era atuyamba nnyo ne nnyumba yaffe ey’oku kiggya yagizimba bulungi ya kitiibwa.

Yatutegeeza nti muserikale akolera mu ofiisi ya Pulezidenti era lumu waaliwo enkaayana z’ettaka e Kayunga wakati w’omusajja ayitibwa Kalangwa ne minisita Nantaba.

Kitagenda yajja n’agumba ku kitebe kya disitulikiti okumala ennaku ssatu nti yali atumiddwa ofiisi ya Pulezidenti.

Ennaku ze yamala mu kifo kino yatutegeeza nti mmotoka ye gye yalimu yaliko kkamera eweereza ebintu byakola butereevu mu ofiisi ya Pulezidenti eri bakama be okulondoola byakola era n’agaana abantu okugisemberera.

Twakitegeerako nti mwannyinaffe yagendako e Russia n’atendekebwa naye kino sikirinaako bukakafu nti era yavaayo ng’atikkiddwa diguli ekyamuyamba okumutumanga misoni ezakabi ng’akomyewo.

Kyokka nze bye bamwogerako nti amanyi ku kuttibwa kwa Kaweesi, si bikakasa era bwe kinaazuulibwa nti yakwatirwa bwereere, twagala aliyirirwe era Gavumenti emwetondere kuba bino byonoonye erinnya lye n’eya famire.

Mu bamu ku baganda ba Kitagenda kwekuli, Abdul Rahman Kamoga abeera e Canada, Dr. Hajji Moses Sseguya (Atwala ebyobulamu e Kasangati), Omusuubuzi womu Kikuubo, Abbey Muwonge, Hajjati Hadijja Namazzi (Musomesa wa ku Sir Apollo Kaggwa), Hajjati Sanulah Namuyomba (yali akola mu UTODA), Uthman Kamoga (Yali akulira eby’enjigiriza e Luweero), n’abalala bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana