TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lumumba awabudde mukamawe Museveni ku by'okulwanyisa enguzi

Lumumba awabudde mukamawe Museveni ku by'okulwanyisa enguzi

By Muwanga Kakooza

Added 8th June 2018

SSABAWANDIISI wa NRM Justine Kasule Lumumba awabudde Pulezidenti Museveni obutatondawo kitongole kirala kirwanyisa nguzi mu ggwanga wabula ayongere maanyi mu ofiisi ya Kaliisoliiso wa gavumenti ebadde ekola omulimu guno.

Lumumba 703x422

Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba

SSABAWANDIISI wa NRM Justine Kasule Lumumba awabudde Pulezidenti Museveni obutatondawo kitongole kirala kirwanyisa nguzi mu ggwanga wabula ayongere maanyi mu ofiisi ya Kaliisoliiso wa gavumenti ebadde ekola omulimu guno.

 ‘’Ebitongole bya gavumenti  bw’ebiba birimu obunafu (Pulezidenti) asobola okukyusa etteeka eribiddukanya oba okugobamu abatakola mu kifo ky’okutondawo ebitongole (oba emmeeza) ebirala wansi w’amaka g’obwa Pulezidenti okukola emirimu gye gimu’’ Lumumba bwe yagambye bannamawulire mu Kampala.

Kyokka ye Kaliisoliiso wa gavumenti Irene Mulyagonja ng’ayogera mu mikutu gy’amawulire egitali gimu okuli ne leediyo yagambye nti Pulezidenti okutondawo ekitongole ekirala mu maka g’obwa Pulezidenti okulwanyisa enguzi ssi ky’ekijja okuba ekisoose n’awa eby’okulabirako ebyenjawulo mu mawanga agatali gamu agalina ebitongole ebirwanyisa enguzi ebisoba mu kimu. Mu ngeri y’emu yagambye nti abamu ku beenyigira mu buli bw’enguzi ‘banene’ nga bazibu okukolebwaako.

Kyokka Lumumba ng’asinziira ku kitebe kya NRM e Kyaddondo Road mu Kampala yagambye nti tawagira bya kussaawo  mmeeza mu maka ga Pulezidenti kukola ku buli nsonga n’agamba nti kiyinza okuletera minisitule zonna okuggalwawo nga kino ssi kirungi eri NRM.

Bino bidiridde Pulezidenti okusinziira mu kwogera kwe eri palamenti n’alumba ofiisi ya kaliisoliiso wa gavumenti nti naffu n’agamba nti agenda kussaawo emmeeze erwanyisa enguzi mu maka g’obwa Pulezidenti.

Emmeeza eno egenda kukulemberwa eyali Ssabawandiisi w’ekibiina ekirwanirira embeera z’abasomesa ekya ‘Uganda Teachers Union’ James Tweheyo. Bammemba baako kuliko Martha Asiimwe ne sisita  Grace Akiror. Museveni yewunyizza lwaki abakanda abantu enguzi tebalopebwa wa kaliisoliiso wa gavumenti ne yebuuza ekyatuuka ku ofiisi eno.

Lumumba yagambye eby’okulwanyisa enguzi birekerwe Kaliisoliiso wa gavumenti alina obuyinza okubakwata mu Konsityusoni.

Lumumba era yasabye Pulezidenti Museveni okumalawo obutaakanya obuliwo wakati we (Lumumba) n’akulira eby’okulonda mu kibiina kya NRM obuvuddeko okuneneng’ana mu lwatu n’agamba nti zino tezikyali nsonga za mu kisenge (mu NRM) zituuse mu luggya.

Kyokka  Tanga Odoi yagambye olupapula lw’Olungereza muganda wa Bukedde olwa New Vision nti tekyetaagisa Museveni kuyingira butakaanya buno kuba tewali nsonga nnene emwawula  na mukama we.

            Odoi gye buvuddeko yalangira Lumumba nti mukulembeze mubi atalina bisanizo wadde amanyi bulungi okuzina amazina n’asikiriza abantu okuwa NRM obululu.     

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...