TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okukuza olunaku lw'abazira - Katikkiro wa Ethiopia atuuse mu Uganda

Okukuza olunaku lw'abazira - Katikkiro wa Ethiopia atuuse mu Uganda

By Muwanga Kakooza

Added 8th June 2018

KATIKKIRO wa Ethiopia Dr. Abiy Ahmed ali mu Uganda mw’agenda okuba omugenyi omukulu ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abazira ku Lwomukaaga June 9 olugenda okubeera mu disitulikiti y’e Kakumiro.

Kagutu 703x422

Pulezidenti Museveni ne mukulu munne Abiy owa Ethiopia nga bali e Ntebe.

Dr. Abiy agenda kuweebwa omudaali ogwa ‘’Pearl of Africa Grand master award’’ ku mikolo gy’okujjukira  abazira abaalwana okununula Uganda okuva mu mikono gy’abakulembeze ababi.

Ku bugenyi obw’ennaku ebbiri bw’azzeeko wano ng’ayitiddwa mukulu munne Pulezidenti Museveni, Dr. Abiy agenda kwogeraganya ku by’okunyweza enkolagana n’amawanga gombi mu by’obusuubuzi  n’ebyenfuna.

Lwo olunaku lw’abazira lugenda kukuzibwa e Birembo mu disitulikiti y’e Kakumiro era emikolo giri ku mulamwa ‘’Okujjukira abalwanyi abaawayo obulamu bwabwe ne balwana olutalo, omulimu gw’okunyweza ebyatuukibwako gukakata ku ffe (abaliwo).’’  

Nga January 8, 1985 abayeekera ba NRA abaaduumirwanga kati Pulezidenti Museveni, basala oluguudo lwa Hoima – Kakumiro mu kitundu ekimanyiddwa nga Nkondo ne bagenda   okulumba enkambi y’amagye e Kabamba.

Baawummulirako e Kasambya ekiro era baalumbibwa ab’eggye lya UNLA ne bubeefuka okukkakkana era aba NRA ne bafiirwayo bannaabwe e Birembo kyokka omulabe waabwe yanafuwa okutuuka lwe baawamba obuyinza mu 1986.

Ng’oggyeeko e Birembo, wagenda kubaawo ebijaguzo ebirala mu disitulikiti ezenjawulo era wiikendi egenda kuba ya kusaba mu nzikiriza ezitali zimu okujjukira abazira ba Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bo1 220x290

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti...

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

Index 220x290

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa...

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

39248881101567630827890782826876916504461312n 220x290

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola...

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde...

Shecranes03 220x290

She Cranes ekubye Malawi mu za...

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka enkya ya leero eyongedde okulaga nga bw'eri emmalirivu okusigaza engule...

Hip1 220x290

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza...

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba