TOP

Ebipya ku by'okwokya essomero lya Buddo

By Musasi wa Bukedde

Added 9th June 2018

Ebipya ku by'okwokya essomero lya Buddo

Lip1 703x422

Kayongo eyali akulira Buddo.

EYALI akulira essomero lya Budo Junior annyonnyode ku lutalo lwe yalina n’omugagga gwe balumiriza okwokya essomero ne mufiiramu abaana 20 mu 2008.

William Kayongo kati akulira Ebyenjigiriza mu Munisipaali y’e Makindye yategeezezza Bukedde nti okwokya essomero ly’e Budo kyandiba nga gwali mupango okumusiraanya wadde nga kino teyasooka kukitegeera.

Annyonnyola nti yamanya luvannyuma lwa kwokya ssomero, okwaddirirwa ebizibu eby’omuddirihhanwa ebyamutuukako. Okukkakkana ng’ebyobugagga bye ebisinga obungi birugenze.

Bukedde yatuukiridde Kayongo okubaako by’annyonnyola oluvannyuma lw’ebitongole ebikessi okuttukiza omusango gw’okwokya Budo nga April 12, 2008. Ebitongole ebikessi bibuuliriza ku mugagga omu agambibwa nti yali mabega wa kikolwa kino.

Kigambibwa nti omugagga yakola sitetimenti kyokka ne yeeyimirirwa. Ensonda zaategeezezza nti okuva olwo abadde akozesa abanene mu Gavumenti n’ebitongole by’Ebyokwerinda okutta omusango.

Abantu bana bazzeemu okukwatibwa ku nsonga z’omuliro gw’e Budo okuli Moses Lumu agambibwa nti omugagga yamuwa ssente okwokya essomero. Lumu alabikira mu katambi akasaasaana ku mikutu gya kompyuta ng’ayogera engeri essomero gye lyayokebwa ne yeewaako obujulizi nti yali omu ku baalyokya era ye ne banne baapangisibwa mugagga.

Bukedde yafunye obubaka bw’amasimu obugambibwa nti buli wakati w’omugagga ono n’omukungu wa Gavumenti akola ku nsonga z’okuggya ku mugagga omusango. Mu bubaka boogera ku ngeri y’okujungulula obujulizi bwa Lumu obuli ku katambi bwe baasobodde okumukozesa sitetimenti endala empandiike ng’ekyusa ebiri mu katambi.

Abalala abaakwatiddwa kuliko eyali omukuumi w’essomero Julius Wesisi 54, Yusufu Kiggundu ow’e Kigoogwa ku lw’e Bombo ne Ivan Musimenta ‘Muleefu’. Ye Kayongo yagambye nti, “tulinze emyaka 10 okuva 2008 nga twagala okufuna amazima ku muliro gw’e Budo.

Kyandibadde kirungi nnyo bannaffe abanoonyereza kye batuwa kibeere nga kye kituufu ekyenkomeredde.” N’agamba nti omuntu bw’aba atutte ekiseera kiwanvu ng’anoonyereza, asuubirwa nga ky’awa abantu kye kituufu. “Ebintu bingi byanjogerwako n’ebirungi bye nali nkoledde essomero ly’e Budo byasangulwawo, n’abantu abanninamu obwesige ne batandika okulowooza oba okukkiriza nti nze Kayongo, nze nakola ekizibu ekyo,” bwe yategeezezza. N’agamba: emyaka 10 bukya baana bafa e Budo gibadde gya bulumi nnyo gyendi kubanga saaweebwa mukisa gwonna kwennyonnyolako.

Kyalibadde kirungi okunoonyereza kuno ne kunsangulako amaziga. “Abazadde, abaana be nnasomesa, abatuuze b’e Budo bonna baali bamanyi omukwano gwe nnalina eri abaana. Era nayingira mu byafaayo bwe nagoba abasomesa bataano, ne nsuzaako metulooni ku poliisi lwa kukuba baana.

Ebyo byonna nnabikola kuzimba ssomero lya Budo eryali zaabu gyendi. Budo ye yanfuula kyendi, nali naakamala ku ssomero eryo emyaka 28 kuba mu bulamu bwange ly’essomero lye nasinga okulwako.” Kayongo alowooza nti poliisi teyakola mulimu gwayo bulungi ku nsonga z’e Budo. “Naye abeebyokwerinda bwe baba bazuukusizza ekintu kino, batubuulire omutawaana gwava wa tusobole okufuna okuddibwamu okutuufu emitima gitukke.” EBYALIWO ESSOMERO LWE LYAGGYA Kayongo agamba: nzijukira bulungi, omuliro lwe gwakwata ebizimbe by’essomero nali wa Bakuli ne Gordon Byaruhanga eyali ssentebe w’abawagizi ba Express era Express yali eva kusamba nga tuva kulaba mupiira.

Mu kiiseera ekyo nali mmaze okuva e Budo ng’omukulu w’essomero nga liri mu mikono gya Livingstone Ddungu. Ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro Ddungu yankubira essimu n’ahhamba nti yali awulidde essomero lyali likutte omuliro naye bwemba ndi kumpi nziruke ntuukewo ndabe kuba ye yali walako. Nnavuga emmotoka yange era twagenda ne Gordon Byamukama eyamperekerako ku kitebe ky’abazikiriza omuliro (Fire Brigade) ku ssaawa ya Kwini ne batuwa ttanka y’amazzi ne tugenda e Budo okutaasa embeera.

Twasanga abantu b’ekitundu bakola butassa mukka okutaasa embeera eyali emaze okubijja. Poliisi n’eyambako okuzikiza omuliro kyokka gwali gumaze okutta abaana.

Olw’okuba abaana abaali mu ssomero nze nnali nnabayingiza nga Heedimasita, nnatandika okubakuhhaanya nga nnyambibwako abasomesa n’okusobola okumanya abamu ku baali batalabikako era enkeera nze nakeera e Mulago ku ggwanina ne metulooni ne tuyambako abazadde okufuna emirambo gy’abaana abaali bafiiridde mu muliro. Poliisi teyampa mukisa kuginnyonnyola.

Oluvannyuma lw’ennaku bbiri nagenda ku kitebe kya bambega e Kibuli okubannyonnyola ebyaliwo naye bwe natuukayo bankwata bukwasi mu maaso g’abaamawulire nga balaba.

ENKOLAGANA YE N’OMUGAGGA AGAMBIBWA OKWOKYA ESSOMERO

Siyinza kugamba nti twali tulina bingi ebitugatta n’omugagga oyo (amwogera amannya, naye tugalese) naye olw’okuba naye nalina ekifo ekimu we twali aboomuliraano n’omugagga oyo. Mu kifo ekyo omugagga yali aliko by’akolerayo, ffe nga baliraanwa bye twali twemulugunyako. Era nnalina bizinensi yange (bizinensi erekeddwa bweru) gye yayagala ennyo muguze kyokka nnagaana.

Wabula omugagga oyo we yanneesibirako okumuguza bizinensi yange, mu kiseera ekyo bbanka yali emmanja nga ndi mu nteeseganya okunnyongerayo ebbanga okusasuliramu kubanga ebyobugagga bya bizinensi byali bisobola okuvaamu ensimbi okusasula ebbanja. Essomero ly’e Budo bwe lyaggya, bbanka nayo n’entabukira okukkakkana ng’ebintu byange bigenze era bizinensi yange omugagga yagitwala. Yagigula ku nnyondo olw’ebbanja lya bbanka.

POLIISI ENOONYEREZE KU BBANKA Bbanka ya Barclays yali yampa looni eyitibwa “Apex loan” (eweeba omuntu agenda okwekulaakulanya era asasula amagoba matonotono okwawukanako ne looni endala). Wabula mu ngeri gye saategeera, bbanka yakyusa looni n’efuuka ya byabusuubuzi “Commercial loan”. Olwo ezaali obukadde 650 ze baali babanja ne zifuuka akawumbi kalamba n’obukadde 200.

Bizinensi yange baagibaliriramu obuwumbi busatu, ekyali kimpa omukisa okuteesa ne bbanka kubanga mu buli ngeri nali nja kusasula. Kyokka essomero lye Budo olwakwata omuliro, bbanka teyanneebuuzaako n’esazaamu looni. Mu kaseera katono bizinensi ne bagiguza omugagga. Kino n’okutuusa kati nkyakyewuunya kubanga bbanka nali ngisasula era empapula zonna nzirina.

Ndowooza nti abanoonyereza ne mu bya bbanka bajja kutuukayo okukakasa obulambulukufu n’obuvuyo obwakolebwa, okunnemesa era bwe kivaayo nti omugagga aliko by’amanyi ku kwokya Budo siyinza kukiwakanya. Numirwa wamu n’abazadde abaafiirwa abaana baabwe, nsaba mukama alaba ne mu kizikiza ne mu kyama atulage omusana ku baayokya abaana b’e Budo. Eby’e Budo tebirinva ku mutima, kyankuba wala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga