TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyagenze mu bwenzi n’alimba bwe bamuwambye bamukutte

Eyagenze mu bwenzi n’alimba bwe bamuwambye bamukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 10th June 2018

Eyagenze mu bwenzi n’alimba bwe bamuwambye bamukutte

Gib2 703x422

Nalunga eyalimbye Ntege (mu katono) nti bamuwambye.

OMUKAZI alase bba ne bbebi we awaka n’agenda ew’omusajja omulala. Laavu y’omusiguze emunyumidde n’alemererwa okudda awaka n’amukubira essimu n’amulimba ng’abasajja bwe baamuwambye ng’agenda ku kabaga ka mukwano gwe ak’amazaalibwa ne bamukozesa.

N’omusajja amusalidde amagezi n’amutegeeza ng’omwana we bwe bamuwadde ekitanda ng’ali bubi. Omukazi adduse mu bwenzi n’akomawo awaka emisinde nga ne ssente ze yabadde akanda bba tazifunye era poliisi y’e Bulenga emugguddeko omusango gw’okulimba oguli ku fayiro nnamba: SD 26/04/06/2018.

Hadijah Nalunga 25, mukyala wa Isma Ntege ab’e Bulenga ye yabadde yeewambye. Bwe baamututte ku poliisi yagikakasizza nga bwe yabadde awambiddwa ne bamuteeka mu kifo ky’atajjukira ne bamukozesa.

OC w’e Bulenga, Lilian Birabwa yategeezezza nti bagenda kusooka kutwala Nalunga mu ddwaaliro bamukebere okukakasa oba ddala baamukozesezza n’oluvannyuma abatwale mu kifo ky’agamba nti gye baamuwambira.

Yategeezezza nti bagenda kumuggalira okutuusa ng’ayogedde ekituufu kubanga abantu bayitirizza okuteeka bannaabwe ku bunkenke.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kani4 220x290

Kanye West ne Kim Kardashian baawaanye...

Omumerika Kanye West ne mukyala we Kim Kardashian bacamudde pulezident Museveni.baawaanyi Uganda baagiyise ggulu...

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde