TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatemu batta batya abantu emisana ttuku ne babulawo batyo?

Abatemu batta batya abantu emisana ttuku ne babulawo batyo?

By Musasi wa Bukedde

Added 10th June 2018

Abatemu batta batya abantu emisana ttuku ne babulawo batyo?

Lip2 703x422

Col. Abiriga

ABASSE Abiriga bafe nga bawuuzuuma! Kawumpuli y’ayinza okubatuwonya; ggwe ate oba buli lwe batta bavaawo nga tewali afunye wadde akanuubule!

Tubadde tukyali ku bya muyiggo gwa ISO okukwata abatta Felix Kaweesi emisana ttuku, ate ne Ibrahim Abiriga ne bamutta ng’ensi yonna eraba. Abamu babasse bukya, abalala babasse buwungeera ate ng’enzita yeemu: pikipiki bbiri, ziriko abantu bana, bakuba amasasi nga tebageeguya ne bavaawo nga bakakasizza nti gwe bajjiridde afudde! Badduka tewali awondera ne babulawo batyo!

Abali mu bitongole ebikuumaddembe mu kifo ky’okusaanyaawo abakuba abantu amasasi emisana ttuku, bagatta bugassi ddoboozi lyabwe ku ly’abantu baabulijjo mu kusaasira nti: Omwoyo gwa Kaweesi, Abiriga, Maj. Mohammed Kiggundu ne Bamaseeka be basse gyonna giwummule mirembe. Ensi ng’enaagwa eddalu, abantu batandika okuttibwa mu nzita yeemu ne baniigiina awatali awondera.

Eddalu litandika okukula ng’abatemu basazeewo okulondobamu abantu abeesobola omuli n’abebyokwerinda abalina n’abaserikale ababakuuma ne babatta awatali kubawa mukisa kwerwanako.

Obutemu buno buli lwe bubeerawo buleka abantu ba bulijjo abatalina mukuumi wadde omu, emitima gibali mu mitwe nga beebuuza; “We battidde omunene alina n’abakuumi, naye bwe banaatuuka ku kaamukujje waabwe, nnaawonera wa?” Ensi eyongera okugwa eddalu ng’abamu ku battibwa basoose kulaalikibwa era okulaalika okwo ne kuloopebwa ne mu b’ebyokwerinda; wabula abatemu ne batuukiriza ‘misoni’ yaabwe ng’abeebyokwerinda tebategedde!

Eddalu likula ne lifuuka ekkankada, nga waliwo abakwatiddwa n’okutulugunyizibwa ne batulugunyizibwa nga bavunaanibwa okukola obutemu obwo, kyokka ate obutemu obw’engeri yeemu ne bugenda bugenzi mu maaso ate nga n’obukambwe babwongeddemu. Eddalu liva mu kukaddiwa ne likootakoota, ng’owulidde nti ate mu bitongole by’ebyokwerinda mulimu obukundi n’okukoonagana; abandigasse amaanyi okulwanyisa abatemu, buli omu asika azza wuwe!

Abattisa amasasi bali ku ludda lumu ate oludda olulala nga waliyo abawamba abantu ne basaba ssente oluvannyuma ne batuga be baawambye ne babatta era bangi ku bbo ne babulawo nga nabo tebakwatiddwa.

Abeebijambiya ne batta, ab’ennyondo ne batta n’abaamasasi ne batta! Abeebyokwerinda mutaase ensi nga tennalaluka kutuuka ku ssa likasuka mayinja! Muggyeeyo n’agoomubuto ate nga mukolera wamu kitole, mukwate abatemu bano abatta abantu emisana ttuku.

Bwe mutaakole ekyo, nga muwaddeyo ensi eraluke. Ate bw’enaalaluka ne yeeyambula n’engoye, nammwe tejja kubataliza ejja kutandikira ku mmwe ng’ebakasukira agayinja agazitowa laatiri kkumi ate ng’egabakuba ku mitwe. Ffenna twesabire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...