TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasiraamu batadde gavumenti ku nninga ennyonnyole enfa ya Abiriga

Abasiraamu batadde gavumenti ku nninga ennyonnyole enfa ya Abiriga

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2018

ABASIRAAMU batadde gavumenti ku nninga ennyonnyole enfa ya Abiriga kubanga efaananira ddala ey’abakulembeze b’Abasiraamu abazze battibwa ne batafuna kunnyonnyolwa.

To 703x422

Omumyuka wa Mufuti owookubiri, Sheikh. Muhammad Waiswa eyakuliddemu okusaalira omubaka Ibrahim Abiriga n’omukuumi we Said Kongo, yagambye nti, webituuse balina okufuna okunnyonnyola okulimu eggumba ku nsonga eno.

Yagambye okutta abantu mu bukambwe obwenkanidde awo kulina okukoma mbagirawo kubanga tekoma kukulinnyirira ddembe lya Bannayuganda naye ejja kuvaako akatabanguko mu ggwanga ng’abantu beekyaye.

“ Buli lwe wabaawo obutemu mu ggwanga Abasiraamu ffe tubonaabona nga tusibibwa ate ne batuta ng’obujulizi bubuze! Kyokka lipooti z’okunonyereza tezifuluma okuviira ddala ku Hajji Kigejjogejjo.

Kino kirina okukoma mbagirawo. Kulaani ekirambika bulungi nti omuntu attibwa mu ngeri efaananako ng’eya Abiriga ne Kongo, mu maaso ga Katonda, afuuka mujulizi era Abiriga ne Kongo, bagenda kusigala balamu kubanga abajulizi mu maaso ga Katonda tebafa,” bwatyo Waiswa eyabadde omumalirivu bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti lwakuba abantu baabulijjo tebalina busobozi bufuna bwino mangu ku batemu bano, naye bamanyiddwa era Katonda abamanyi.

Yasabye Abasiraamu okukomya enjawukana kuba abatemu ze bakozesa n’amaliriza ng’abakuutira okunywerera ku Allah kuba okufa kutuuka essaawa wonna mu ngeri yonna.

Aba famire ya Abiriga yabakuutidde obutakaayuka mu kiseera kino n’agamba nti, ekiruubirirwa ne bwekibeera kirungi, tekisonyisa kibi, essaawa yonna, abatemu bajja kusasulira ebibi byabwe mu maaso ga Katonda.

Ye omumyuka wa Katikkiro wa Uganda asooka, Gen. Moses Ali yagambye nti, okulwanyisa ekitta bantu si mulimu gwa Gavumenti oba poliisi, guno mulimu gwa Bannayuganda bonna, bwebalaba embeera gye basuubiriza okuba nga si nnungi, bagiroope eri aboobuyinza basobole okukola omulimu gwabwe.

Yagasseeko nti, Abiriga tebaamusse kubanga abadde Musiraamu kubanga teyabuyingidde ggulo ate tebaamusse kubanga munnakibiina kya NRM, ensonga eyamussizza, balina kukwata batemu baginnyonnyole.

Emirambo ogwa Abiriga ne Kongo, gyatuusiddwa ku muzikiti gwa Gaddafi ku Kampalamukadde ku ssaawa 2:20 eggulo ne gikwasibwa omumyuka wa Mufuti wa Uganda owookubiri, Sheikh.

Muhammad Waiswa ne bamaseeka abalala ne guyingizibwa mu muzikiti, ogwa Abiriga gwabadde gubikkiddwaako bendera ya Uganda era okugisaalira kwakulembeddwa Sheikh.

Abdullah Ssemambo omumyuka wa Mufuti wa Uganda asooka. Ku ssaawa 3:00 okusaala kwabadde kuwedde era emirambo ne gitwalibwa ku Palamenti, ababaka okukuba eriiso evvannyuma ku munnaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lit1 220x290

Omukazi atulugunya abaana bange...

Omukazi atulugunya abaana bange

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3