TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abataka si bamativu ku nsasaanya y'ensimbi e Mmengo

Abataka si bamativu ku nsasaanya y'ensimbi e Mmengo

By Dickson Kulumba

Added 12th June 2018

Abataka si bamativu ku nsasaanya y'ensimbi e Mmengo

Men1 703x422

Abamu ku bataka nga balaga obutali bumativu waabwe

ABATAKA abakulu b’ebika mu Buganda baagala okutandika okusolooza omutemwa ku buli nsimbi eziyingizibwa e Mmengo oluvanyuma lw’okukizuula nti tebafibwako wadde okuweebwa omutemwa mu bajeti y’Obwakabaka okutambuza emirimu gyaabwe.

 

“ Ffe tetulina kyetugabana. Eggwanika liremeddwa okutulabirira naye ate ssente eziyingira e Mmengo weziri. Kyetwagala okugamba nti buli ssente eziyingira e Mmengo, Abataka ng’abalina omugabo mu Buganda bafuneko omutemwa;- ku Ngule tufuneko kuba bazzukkulu baffe bebagunywa, Ku Nkuuka tufuneko kubanga bazzukkulu baffe bebajja mu Nkuuka, ku mipiira gy’amasaza tufuneko kuba bazzukkulu baffe bebasamba.

Buli kimu tukiroboleko, olukiiko lw’Abataka lusobole okuyimirirawo n’okutambula osanga Omuwanika akalubirirwa ssente okuzireeta zonna mu ggwanika ate nazifulumya, bweziyingira bwafulumya abamu atwerabira. Kati batuwe nga tezinayingira ggwanika kubanga bweziyingira zikaluba okufuluma nga zidda ewaffe,” Omutaka Kyadondo Kasirye Mbegeramula nga ye Muwandiisi w'Olukiiko lw'Abataka bweyasomye ebimu ku byasaliddwawo Abataka.

Bino byabadde mu Lusirika lwabwe olw’Omwaka olwatudde ku butaka bw’ekika ky’envubu obusangibwa ku lusozi Mbazzi mu ggombolola y’e Ntenjeru mu ssaza ly’e Kyaggwe nga lwatandika ku Lwokutaano June 8,2018 nga lwaggaddwawo Ssabalangira Godfrey Musanje Ngobe era nga batesezza ku bintu ebirala bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...