TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala gwe eyabuzibwawo e Semuto bamukwatidde mu loogi e Nansana

Omuwala gwe eyabuzibwawo e Semuto bamukwatidde mu loogi e Nansana

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2018

OMUWALA Angella Nalubega Safina 18, eyabuzibwawo e Semuto – Nakaseke ku Lwokutaano bamukwatidde Nansana mu loogi emu eyamuwamba mw’abadde amukukumye.

Bamukwatiddemuloogi4 703x422

Omuwala Nalubega ng'alaga bazadde be loogi omuvubuka eyamuwamba mw'abadde amusuza

Bya JOHN KATENDE 

 

OMUWALA Angella Nalubega Safina 18, eyabula okuva mu bakadde be e Ssemuto bamusanze mu loogi e Nansana.

Poliisi y’e Nansana ye yakubidde eye Ssemuto ku Mmande ya wiiki eno n’egitegeeza ng’omuwala anoonyezebwa bwe baamuzudde. Nalubega yatutte poliisi ku Green Bar and Restaurant loogi gye baabadde bamukwese e Katooke Zooni A e Wamala mu Munisipaali y’e Nansana.

Okusooka waliwo omukyala atunda mu kawooteeri, Nalubega gwe yasaba essimu oluvannyuma lw’omuvubuka okumulekawo ng’agenze okunona ssente n’alagirira bazadde be ekifo we yali e Banda, kyokka kitaawe yagenda okutuukawo nga muwala we taliiwo.

Yali abasabye 20,000/-. Yatuukirira poliisi y’e Banda n’agiraga nnamba y’omusango gw’okubula kwa muwala we SD: 08/06/18 era okunoonyereza okwasooka kwalaga nti omuvubuka okufuna ssente z’okusasula emmere yatunda essimu ya Nalubega.

Ng’okumutwala ku poliisi y’e Nansana omuvubuka yamuleka mu wooteeri e Nansana ng’alemeddwa okusasula.

Angel Nyakayisiki, omu ku bakola mu loogi yagambye nti omuwala ono yayingira n’omuvubuka ekiro ne basula bonna n’okulya ekikomando.

Omu ku bawala yagambye nti omuvubuka yali asibye ebiviira kyokka ng’ayogeza bukambwe nga n’entunula mbi.

Nalubega yategeezezza nga bw’abadde tayinza kumanya kyamutuukakako kuba ennaku z’amaze n’omuvubuka abadde amusuza mu bifo eby’enjawulo okuli n’e Kawempe gye yamusuza lwe yamuggya e Ssemuto.

Omuwala yaddiziddwa bakadde be ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso okuzuula oba yabadde awambiddwa n’abaabadde bamuwambye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...