TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukazi w'omugagga wa Movit atutte Gav't mu kkooti

Mukazi w'omugagga wa Movit atutte Gav't mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2018

AB’ENGANDA z’omugagga wa Movit, Simpson Birungi bagenze mu kkooti Enkulu ne baggula omusango ku gavumenti ne poliisi ogw’okukwata omuntu waabwe nga kati baagala kkooti eragire poliisi etwale Birungi mu kkooti bw'aba alina omusango gwonna gw'emuvunaana.

Soma1 703x422

Omugagga wa Movit, Simpson Birungi eyakwatiddwa yali ne mukyala we.

Bya ALICE NAMUTEBI

Bano bakulembeddwaamu mukyala we Sheila Birungi . Birungi era avunaana akulira ekitongole ekikkesi ekya ISO,  aduumira poliisi Martin Okoth  Ochola n’akulira ekitongole kya CMI.

Birungi agamba nti bba yakwatibwa abasajja abalina emmundu nga June 7, 2018 bwe yali agenze ku poliisi y'e Kibuli ku misango gy’okutemula eyali omukozi we Stephen Asaba mu 2010.

Agamba nti poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe omwami we byamukutte mu bukyamu kubanga amateeka gabalagira kumutwala mu kkooti nga tewannayita ssaawa 48 kyokka bamaze naye ennaku eziwera nga tebamutwala mu kkooti.

Asaba ng’ono yali maneja wa Birungi yattibwa abantu abatannategeerekeka omulambo gwe ne bagusuula e Nakawuka ekisangibwa mu disitulikiti y'e Wakiso.

Eggulo akulira ISO,  Col. Frank Bagyenda Kaka yakakasizza okukwatibwa kwa  nnannyini Movit, Simpson Birungi n'agamba nti bamulina mu kaduukulu kaabwe era bamunoonyerezaako.

Okukwatibwa kwa Birungi  kiddiridde poliisi okufuna obujulizi nti yandiba nga yeenyigira mu kutemula  Asaba.

Waliwo n’obujulizi aba ISO bwe bafunye obw’omu ku batemu abenyigira mu ttemu lino okulumiriza Birungi nti ye yabawa omulimu guno era n'abasasula ne ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...

Skysportsrafaelbeniteznewcastle4707489 220x290

Tewali agenda kulemesa Liverpool...

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni...

Vieira2 220x290

Edu awagira Vieira okutendeka Arsenal...

Abadde omutendesi wa Bayern Munich, Niko Kovac ayingidde olwokaano lw’abaagala okusikira Unai Emery, eyagobeddwa...

Joshuaruizjr 220x290

Anthony Joshua addamu kuzannyira...

Kyampiyoni w’ensi yonna ow’ebikonde mu buzito bwa babinywera ow’ekibiina kya WBA, Anthony Joshua akkirizza okuddamu...