TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba DP bawakanyizza eky'abakozi ba Gavumenti okuvuganya ku bwa LC

Aba DP bawakanyizza eky'abakozi ba Gavumenti okuvuganya ku bwa LC

By Muwanga Kakooza

Added 12th June 2018

Aba DP bawakanyizza eky'abakozi ba Gavumenti okuvuganya ku bwa LC

Keb1 703x422

Mao ng'annyonnyola

DP erangiridde nti egenda kweyambisa amateeka  okutangira abakozi ba gavumenti okwesimbawo ku bukiiko bwa LC mu kulonda okugenda okubaawo July 10, 2018.

DP era erangiridde  nti enkung’ana zaayo ez’okwezza obuggya ezigenda okuzingiramu n’okutema empenda z’okwezza obukiiko bwa LC n’okusisinkana abaaliko mu kibiina kino n’okubaperereza okudda egenda kuzitambuza mu ggwanga lyonna.

Bino Pulezidenti w’ekibiina Nobert Mao eyabadde n’omulung’amya  w’akakiiko akategeka enkiiko  z’okwezza obuggya era eyavuganyaako ku bwa Pulezidenti Sam Lubega be baabitegeezezza bannamawulire mu Kampala.

Mao yagambye nti DP tewagira bakozi ba gavumenti kwesimbawo ku bukiiko bwa LC kuba kugenda kubaamu okwawulayawula kw’abantu ku layini z’ebibiina by’obufuzi ng’ate abakozi bano tebalina kulaga ludda. N’agamba nti bagenda kutuula ne bannamateeka baabwe balabe engeri y’okukiremesa. N’agamba nti etteeka ly’ebyokulonda eririwo ligamba omukozi wa gavumenti ayagala okwesimbawo ku kifo ky’obufuzi okusooka okulekulira

Ye   Sam Lubega yategeezezza nti ensisinkano z’aba DP n’abantu abalala abaaliko mu kibiina ezigenderera okuyamba ekibiina  okweyubula zigenda kutalaaga eggwanga nga zitandikira  Mukono ku Festino nga June 27,zigende e Gulu mu July 25 , e Masaka nga August 22  n’ebitundu ebirala byonna eby’eggwanga bajja kutuukayo.  E Mukono  egenda kubaayo nsisinkano y’abakadde ba DP era wakubaayo okujjukira abazira ba DP  nga Ben Kiwanuka, Ssebaana Kizito n’abalala abaliko kye baakikolera. Era eno egenda kusinziirwa okulangirira entegeka DP z’erina okwezza obukiiko bwa LC, n’okutema empenda z’okubayamba okuwangula obubaka bwa palamenti mu munisipaali gye kugenda okubeera.

 E Gulu ensisinkano egenda kuyamba okuperereza abavubuka okwegatta .Mu lukung’ana Mao yategeezezza nga ba’wgenda okusisinkana loodi meeya  Erias Lukwago n’omubaka w’ekibuga Mukono Betty Nambooze.

Ku by’okwerinda Mao yasoomozezza gavumenti okussaawo embeera eyamba Bannayuganda bonna okweyagalira mu nsi yabwe n’agamba nti kye kijja okuyamba okukendeeza ettemu n’effujjo eddala erikolebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bg5 220x290

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018...

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018 gugguddwaawo e Lugogo: Gwakumala ennaku 3

Laba 220x290

Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e...

OMUSUMBA Mathias Ssekamaanya ayimbye Mmisa e Bungereza n’akuutira Bannayuganda ababeerayo okunyweza obumu.

Ltd 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE ...

Bazudde ebipya ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi ebiwuniikiriza. Mulimu ebikyuse mu nnaku 100 Ochola z’amaze...

Whatsappimage20180622at25800pm 220x290

Balaze emibiri mu mwoleso gwa Bride...

Ebyana biwala biraze emibiri ku mukolo gw'okuggulawo omwoleso gwa Bride and Groom ogutegekeddwa Vision Group ku...

Lindwa 220x290

Mulindwa bamuloopedde abazannyi...

VIPERS olwawangudde ekikopo kya Azam Uganda Premier League, abamu ku bazannyi baayo ne bateekawo obukwakkulizo...