TOP

Eby'omugagga wa Movit byongedde okusajjuka

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2018

Eby'omugagga wa Movit byongedde okusajjuka

Sim1 703x422

Omugagga Simpson owa Movit.

ABAKULIRA ekitongole kya ISO bongedde okuteeka akazito ku mugagga wa Movit, bwe baleese obujulizi obulaga enkolagana ye n’abasajja abamulumiriza.

Kuno bagasseeko ne bye bazudde ku ngeri poliisi gye yavuluga emisango era omu ku baserikale eyali anoonyereza n’amaliriza ng’aweereddwa omulimu mu kkampuni ya Movit n’asuulawo emirimu gya poliisi!

Aba ISO okukwata Simpson Birungi nnannyini kkampuni y’ebizigo bya Movit beesigamye ku bujulizi obuleeteddwa abasajja babiri abagamba nti babadde bapangisibwa omugagga okukola ‘misoni’ ezirimu obutemu.

Birungi baasoose kumukwatira ku kisaawe e Ntebe ne bamutwala ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli ne bamuggyako siteetimenti wabula n’ayimbulwa ku kakalu ka poliisi.

Kyokka oluvannyuma ISO yazzeemu n’emukwata era ensonda zaategeezezza nti akuumirwa Kyengera mu kamu ku buduukulu bw’ekitongole kino ekiketta munda mu ggwanga (Internal Security Organisation – ISO).

Omwogezi w’ekitongole ekikessi mu poliisi, Vincent Ssekate yagambye nti bambega ba poliisi baabuuzizza Birungi ku byekuusa ku kutemula Maneja we Stephen Agaba era oluvannyuma n’ayimbulwa ku kakalu ka poliisi.

Wadde Ssekate yagambye nti eby’okuddamu okukwata Birungi tebannabitegeerako nga poliisi, ensonda zaategeezezza nti ISO yazzeemu okumukwata oluvannyuma lw’okukitegeera nti aba poliisi bangi babadde bamanyi ku nsonga zino wabula nga tebazigoberera mu bugenderevu era abamu baali baamufuula lusuku.

Oludda lwa Movit lugamba nti abantu abamu babadde bajja n’obujulizi obujingirire ku Birungi era nga balaalika nti bwe baba tebaweereddwa ssente bagenda kwonoona erinnya ly’omugagga n’erya kkampuni; nti era ne babawa ssente okutaasa ekifaananyi kya kkampuni wadde nga bakimanyidde ddala nti obujulizi tebuliiko mutwe na magulu.

Obujulizi abasajja ab’enjawulo bwe boogera ku Movit bwetoloolera ku bintu bibiri: Okutta Maneja Asaba mu 2009 n’okwokya ekisulo ky’abayizi ba Budo Junior omwafi ira abayizi 20 abaali basula mu Nassolo mu April 2008.

Abasajja abalumiriza Birungi bagamba nti ebbanga eryo lyonna ensonga zino zibadde zitambulira mu poliisi wabula ng’abanene baazituulaako okutuusa ISO lwe yazitegeddeko n’ezizuukusa.

OBUJULIZI ISO BW’ERINA KU MOVIT Ivan Musimenta amanyiddwa nga ‘Muleefu’ eyakwatiddwa ab’ekitongole kya ISO wamu ne munne Yusuf Kiggundu bye bannyonnyodde by’ebyatadde Birungi (Movit) mu kattu.

Bwe bumu ku bujulizi ISO bwe yeesigamyeko ennyo mu kussa akazito ku mugagga. Muleefu annyonnyola nti mu October 2017, yafuna essimu okuva eri mukwano gwe Yusuf Kiggundu, eyali omuserikale w’ekitongole kya Poliisi ekya ‘Flying Squad’ ng’asinziira Kawempe, n’amutegeeza nti yalina amawulire emeekusifu ge yali ayagala okugabanako naye. Agamba nti nga basisinkanye, Kiggundu yali n’omusajja omulala oluvannyuma gwe yategeera nti ye Moses Lumu.

Lumu yabategeeza nti yali omu ku bantu abasatu omugagga wa Movit be yakwasa ddiiru y’okwokya ekisulo ky’Abayizi ba Budo Junior mu mwaka gwa 2008. Lumu yali ayagala Kiggundu amuyambeko okukuba pulaani y’okuteeka omugagga ku kisenge nti amusasule obukadde 50 ze yasigala amubanja mu ddiiru eyo.

Muleefu mu kunnyonnyola agamba nti: Ebigambo bya Lumu byatwewuunyisa era nze ne Kiggundu ne tukkiriziganya ensonga zino okufunayo omuntu ow’amaanyi mu gavumenti oba ekitongole ky’ebyokwerinda tuzibayingizeemu basobole okuzirondoola obulungi.

Muleefu ne Kiggundu bagamba nti baayingira mu nsonga ezo okuyamba ku Lumu wabula kyababuukako ate ISO bwe yatandika okubakwata.

ENGERI ISO GYE YABAKWATA ISO yasooka kukwata Kiggundu owa Flying Squad era ono baamuyoola May 1, 2018 ng’ali kumpi ne Acacia Mall ate enkeera nga May 2, 2018 ne bakwata Muleefu gwe baataayiriza ku Kabu Super makert e Kyaliwajjala.

Nga May 4, 2018, ISO ng’eyambibwaako Kiggundu ne Muleefu baazuula omusajja Lumu, we yali yeekwese oluvannyuma lw’okukitegeera nti abantu be yali yeesiga ate babakutte. Muleefu agamba nti Lumu yabategeeza nti omugagga wa Movit yabawa misoni ya Budo ng’ali ne banne abalala babiri okwali Julius ne Byamukama, nti era n’abasuubiza okubawa obukadde 70, nga bamalirizza misoni y’okwokya Budo.

“Bino byonna Lumu yabyogera nga n’okukankana akankana ng’agamba nti amayitire ga banne okuli Julius ne Byamukama, tagamanyi ng’agamba nti bayinza n’okuba nga baafa.” bwatyo Muleefu bw’annyonnyola. Muleefu agamba nti olw’obukulu bw’ensonga, baatuula ne Lumu ne bamuggyako siteetimenti era ne bamukwata ne ku katambi ng’alumiriza Movit.

Muleefu agamba nti ye ne Kiggundu baasalawo ne banoonya omugagga wa Movit okumubuuza oba alina ky’amanyi ku bigambo bya Lumu. Muleefu agamba nti baasisinkana mu bifo eby’enjawulo okwali Village Mall e Bugoloobi, Pope Paul mu Ndeeba, Kabira Country Club, Quality Shopping Village e Lubowa, Eden Service Park, Kiwaatule Country Club ne ku City Ville Washing Bay and Lounge e Bukoto. Attottola nti: Bwe twasisinkananga ne Movit ng’atugamba nti byonna ebimwogerwako tebyali bituufu naakamu.

BAGGYA SSENTE KU MUGAGGA Agamba nti mu nsisinkano gye baalimu ku Pope Paul mu Ndeeba, omugagga yabuuza Lumu ne tiimu yonna, ssente ze baali baagala abawe obutabaako gwe babuulira ku bintu bya Budo era nabo kwe kumusaba obukadde 100.

Muleefu ayongera okuttottola nti: Nga tannaddamu kigambo kyonna, omugagga yabasaba bamugumiikirizeemu asooke ayogereko ne looya we. Oluvannyuma yabasuubiza okuzibaweera mu ddoola era ne bakkaanya ddoola emitwalo esatu (obukadde obusoba mu 110). “Twasisinkana e Kiwatule Country Club ku saawa 7:00 ogwemisana ng’omugagga ali ne looya we Mutyaba kyokka ku ddoola emitwalo esatu, yakwasa Lumu ddoola omutwalo gumu n’ekitundu, era n’amulagira okuteeka omukono ku mpapula looya ze yali nazo.

Ng’amukwasa ssente, omugagga yateekawo akakwakkulizo nti omusajja Lumu yali alina okuddamu okwogera mu katambi akalala ng’amenyawo bye yali amwogeddeko ku by’okwokya Budo Junior.” Bw’atyo Muleefu bw’ayongerako.

BATTUKIZA OKUBANJA Wabula oluvannyuma Lumu, Kiggundu ne Muleefu battukiza okubanja nga bagamba nti yabafera mu kifo ky’okubawa emitwalo gya ddoola esatu yabawa gumu kitundu era omugagga bwe yabategeeza nti tagenda kubawa wadde omunwe gw’ennusu kwe kusitula enkundi era awo ensonga kwe kulanda ne zituuka mu ISO era Lumu n’akola siteetimenti ng’alumiriza omugagga ku bya Budo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Yintanenti ekyusizza omuzannyo...

KINO KIRANGO EBINTU bingi ebikyuka buli kadde mu nsi ensangi zino. Ekimu ku bintu ebitayinza kubuusibwa maaso...

Nsale 220x290

Famire erumirizza abaserikale okupanga...

FAMIRE ya Bobi Wine erumirizza poliisi nti eri mu kkobaane okupanga ebizibiti by’emmundu n’ekigendererwa eky’okussa...

Bobiandnyanzi1 220x290

Muganda wa Bobi Wine eyabadde naye...

Muganda wa Bobi Wine eyabadde naye attottodde ebyabaddewo ku Mmande

209944031442387379210161751949138433359683n 220x290

Abaana bambuuza kitaabwe gyali-...

Barbie Itungo mukazi wa Bobi Wine katono atulike akaabe ng’annyonnyola ku kya bba okumukwata ne bamuggalira mu...

Yasin3 220x290

Ddereeva wa Bobi Wine yaziikiddwa...

DDEREEVA wa Bobi Wine eyakubiddwa amasasi mu kalulu ka Munisipaali y’e Arua yaziikiddwa eggulo wakati mu kwaziirana...