TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulira eby'okwerinda mu ggwanga bagumizza Bannayuganda ku ttemu

Abakulira eby'okwerinda mu ggwanga bagumizza Bannayuganda ku ttemu

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2018

Abakulira eby'okwerinda mu ggwanga bagumizza Bannayuganda ku ttemu

Po1 703x422

IGP Ochola (ku kkono), Gen. Tumwine, Gen. Jeje Odongo, Mwesigye, Dr. Byabashaija, Gen. Muhoozi ne Ofwono Opondo oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku mbeera y’ebyokwerinda.

EMBEERA y’ebyokwerinda n’ettemu eriri mu ggwanga ekiseera kino bigasse abakulira ebitongole by’ebyokwerinda ne bagumya ensi nti abatemu babalinnya akagere essaawa yonna baakubakwata babasimbe mu mbuga z’amateeka.

Minisita w’ensonga ez’omunda Jeje Odongo aweze mbagirawo mmotoka ezisaabaza abantu ezirimu ‘ttinti’ mu ndabirwamu n’ategeeza nti ez’obwannannyini eziri mu mbeera eno, akyazeetegereza ng’ali ne minisita atwala eby’entambula basobole okusalawo eky’okuzikolera.

Baabadde mu kwogera eri eggwanga ku Bukedde TV, Bukedde Fama n’emikutu emirala. Abeetabye mu kukubaganya ebirowoozo kwabaddeko: Jeje Odongo, minisita w’obutebenkevu Elly Tumwine, omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola, akulira amakomera Dr. Johnson Byabashaija, omuduumizi w’amagye David Muhoozi, minisita Adolf Mwesigye n’Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo.

Baasoose kukungubagira Ibrahim Abiriga abadde omubaka wa munisipaali ya Arua eyakubiddwa ku lwokutaano oluwedde oluvannyuma ne batandika okunnyonnyola ku byokwerinda by’eggwanga n’okumulunguula ettemu ku bakazi n’okuwamba abantu.

ETTEMU N’OKUTTA ABAKAZI Jeje Odongo yagambye nti, ettemu ku bakazi e Ntebe ne Nansana mu Wakiso. Waliwo omusajja gwe baakwata era okunoonyereza kuzudde nti waliwo abaali bamupangisa okutta abakazi. “Tukizudde nga yali apangisibwa era we tumukwatidde nga yaakatta musanvu. Abalala betukutte tukyabeetegereza wabula bye tuzuula biraga nti baali bakozesa n’ebiragalalagala” Odongo bwe yannyonnyodde. Ate omuduumizi w’amagye Muhoozi yagambye nti, okunoonyereza okwengeri eno tekukoma ku kuzuula ani yakyetabamu, tuzuula lwaki bakikola.

Balowooza nti abamu bakikola lwa bbula lya mirimu ne bakemebwa okupangisibwa okutta abantu. Wabula abatujju n’abayeekera aboomutawaana nga Kony, ADF eyali mu bitundu by’e Kasese ne Bundibugyo yasaanyizibwawo.

Abakaramoja abaali bakozesa emmundu okulumba abantu abalala n’okubabbako ente, UPDF yakirwanyisa ne kiggwaawo. Odongo yayingiddewo n’ategeeza nti bw’otunuulira emikolo egy’amaanyi egizze gibeerawo ng’okulamaga e Namugongo gyatambula bulungi nga tewali afunye buzibu. Muhoozi yagambye nti, aba ADF bakyewogomye mu bibira by’e Congo kyokka ensalo za Uganda zonna ebyokwerinda bitebenkedde.

Wano weyasinzidde n’ategeeza nti, bagenda kuwandiika buli mmundu ne nnyiniyo agivunaanyizibwako, ekiseera kituuke nga waliwo ekibaddewo nga basobola okumanya wa weyavudde ng’agivunaanyizibwako annyonnyola.

Ochola yannyonnyodde ku mmundu za poliisi ze yalagira okwekenneenyezebwa ne w’atuuse, n’agamba nti, omulimu gukyagenda mu maaso era asuubira okumuwa lipoota enzijuvu ku nkomerero y’omwezi guno. Opondo yagambye nti, eggwanga lirimu abantu abataputa buli kintu mu mbeera ya byabufuzi. Bwe bamanya abantu abeenyigira mu buzzi bw’emisango bayinza okubasirikira kubanga bakifunamu nga bakyayisa Gavumenti! Yaggumizza ebigambo bya Museveni nti, waliwo abakola ebikolwa eby’ettemu n’ekigendererwa ky’okutondawo embeera y’okutiisatiisa bannabwe mu by’obufuzi.

Batiise abantu abawagira NRM baleme okuvaayo okugiwagira mu lujjudde olwo baginafuye. OKUWAMBA ABANTU Muhoozi yannyonnyodde nti, ku kwegatta kw’ebitongole by’ebyokwerinda ne bikola ebikwekweto ke kalembereza akaliwo mu ggwanga kuba bafuuzizza abakyamu nga bwe baakola ku muzikiti gwa USAFI.

Ochola yagambye nti, emisango mingi gye bafunye ku kuwamba abantu, kyokka bakizudde ng’emirundi egisinga bo bennyini be beewamba oba okwekobaana ne bannabwe ne beefuula be bawambye ne basabirako ab’enganda zaabwe ssente.

Okuva mu January okutuuka leero, baakafuna emisango gy’okuwamba 72 egy’abawaambiddwa 32 babadde beewamba, bano nabo bavunaaniddwa mu mateeka.

POLIISI OKUTULUGUNYA BE BAKUTTE Ochola yannyonnyodde nti, okuva lwe yajja mu ofiisi yawa ekiragiro ekitongole ekibuuliriza ku buzzi bw’emisango (CID) okuggulawo fayiro ku nsonga eno n’akubiriza buli alina obujulizi abuwe poliisi basobole okukola okunoonyereza abaakikola bavunaanibwe.

Okuggalira abakwatiddwa nga bateeberezebwa okuzza emisango ne basussa essaawa 48 ng’etteeka bwe liragira, Ochola yakinogaanyizzza nti, olumu beesanga nga waliwo bye bakyanoonyereza, essaawa 48 nga tezibamala kye bava bateekayo okusaba, ssinga wabeerawo okukola ennongoosereza mu Ssemateeka etteeka likyusibwe babongere ekiseera okukuumira omusibe mu kaduukulu ka poliisi. Byabashaija baakimutaddeko nti, waliwo ebitongole bya Gavumenti ebigenda mu makomera kkooti gy’esindise abasibe okubakuumirayo ne bibaggyayo.

Yazzeemu nti, kasita omusibe aweebwa ekitongole ky’amakomera, tewali muntu yenna ayinza kumuggyayo okuggyako kkooti.

BODABODA N’EMMOTOKA Tumwine yagambye nti, bagenda kukwatagana ne KCCA okulaba nga bodaboda ziwandiisibwa, omuvuzi afuna akakooti nga mmotoka bw’ekakubamu ettaala kazzaayo ekimyanso, bodaboda okuziteekako akuuma akazirondoola (GPS) era tewali kwambala bikooti ebibikka omutwe n’ekikofiira ky’omuvuzi kirina okuba nga tekimubikka feesi. Odongo yategeeza nti, mmotoka ezikola omulimu gw’okusaabaza abantu terina kubeera na ndabirwamu zirimu ‘ttinti’ era ezizirina bannyinizo baziggyemu ataakikole waakuvunaanibwa. Ku nsonga y’okukwata abasiraamu, Ochola yagambye nti, tewali kuyigg’anya basiraamu, yenna azza omusango akwatibwa nga tatiddwa ku liiso.

Bwe baababuuzizza ku nteekateeka y’okutabagana wabeerewo okuteesa wakati wa Gavumenti n’oludda oluvuganya. Opondo yagambye nti, bangi abagamba nti baagala okuteesa ate tebakkiriza nti Gavumenti eriwo mu mateeka. N’awunzika nti, tewali kyetaagisa kuteesa kubanga palamenti erondebwa bantu era ababaka bagendayo ne bateesa nga bateeseza abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukuleetedde...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukuleetedde ekika kya Kalittunsi ekitaliibwa nkuyege

Luk1 220x290

Jennifer Musisi atutte Lukwago...

Jennifer Musisi atutte Lukwago mu mbuga z'amateeka

Exp 220x290

Express efunye wiini esooka

Express, efunye obuwanguzi obusooka bw'ekubye Police FC ku ggoolo 3-2.

Kop1 220x290

Imam abasibiridde entanda

Imam abasibiridde entanda

Lip1 220x290

Abadde ayagala okuziika ssanduuku...

Abadde ayagala okuziika ssanduuku y'omufu enkalu asimattuse okugajambulwa abakungubazi