TOP

Kitatta byongedde okumwonoonekera

By Joseph Makumbi

Added 13th June 2018

EBYA Abudallah Kitatta ne basajja be 12 bwe bavunaanibwa emisango gy’okusangibwa n’emmundu byongedde okwonooneka kkooti bw’esazeewo okugenda mu luwummula ng’emisango gyakatandika okuwulirwa.

Jmc6581703422 703x422

Kitatta

Omuwandiisi wa kkooti y’amagye, Maj. Gen. John Bizimana, yagambye nti kkooti yagenze mu luwummula okumala ebbanga eritali ggere. Yagasseeko nti, tebamanyi kiseera kituufu kkooti lw’egenda kuddamu kukola.

Bajja kutunula ku kalenda yaabwe balabe singa abakulu banaaba babategeezezza ebbanga lye bagenda okumala mu luwummula luno.

Eggulo kkooti lwe yagenze mu luwummula, Kitatta ne basajja be lwe baabadde balina okukomawo mu kkooti bannamateeka ba Kitatta basobole okubuuza omujulizi Pte. Richard Kasaija omujaasi wa CMI eyakwata Kitatta, ebibuuzo byabwe.

Nga May 21, 2018 (Mmande), oludda oluwaabi olukulemberwa Maj. Raphael Mugisha lwasimba Pte.

Kasaija mu kaguli okulumiriza Kitatta era ne balaga n’ebizibiti by’emmundu okwali n’eya zzaabu Kasaija gye yagamba nti yagiggya mu kiwato kya Kitatta, ebyambalo by’amagye n’amasasi agaali gasoba mu 30 gaali mu mmundu ekika kya SGM.

Oludda lwa Kitatta olukulemberwa Shaban Sanywa lwasaba luweebwe olwa June 12, 2018, bannamateeka kwe banaabuuliza ebibuuzo ebiva mw’ebyo bye yali awadde ng’obujulizi era balooya baabadde bamwesunze.

Okusinziira ku nsonda okuva mu kkooti y’amagye, endagaano ya ssentebe waayo, Lt. Gen. Andrew Gutti yaggwaako tennazzibwa buggya era baabadde tebasobola kuwozesa muntu yenna nga tebalina ssentebe.

Ensonda zaagasseeko nti, okutuusa nga pulezidenti Museveni alonze omuntu omulala okubeera ssentebe wa kkooti eno oba ng’azzizza endagaano ya Gutti obuggya, tewali misango gijja kuwulirwa.

Kino kitegeeza nti, Kitatta ne basajja be, baakumala ebbanga ng’emisango tegiwulirwa.

Wabula bano tebali bokka n’abantu abalala bangi okuli Nixon Agasirwe ne banne n’eyali omubaka wa Bubuulo West mu Palamenti Tony Kipoi Nsubuga n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiandnyanzi1 220x290

Muganda wa Bobi Wine eyabadde naye...

Muganda wa Bobi Wine eyabadde naye attottodde ebyabaddewo ku Mmande

209944031442387379210161751949138433359683n 220x290

Abaana bambuuza kitaabwe gyali-...

Barbie Itungo mukazi wa Bobi Wine katono atulike akaabe ng’annyonnyola ku kya bba okumukwata ne bamuggalira mu...

Yasin3 220x290

Ddereeva wa Bobi Wine yaziikiddwa...

DDEREEVA wa Bobi Wine eyakubiddwa amasasi mu kalulu ka Munisipaali y’e Arua yaziikiddwa eggulo wakati mu kwaziirana...

Tta1 220x290

'Ddereeva wa Bobi Wine yakubidwa...

Wadde poliisi tennavaayo na lipooti ku byazuuliddwa ku mulambo gwa Kawuma, aba famire abaagunaazizza baategeezezza...

Lepu 220x290

Omusomesa wa Pulayimale aleppuka...

ABEEBYOKWERINDA e Mukono bakutte omusomesa wa pulayimale ateeberezebwa okusobya ku bayizi ba P7 basatu ng’abalimbye...