TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omusaayi ogusiigibwa ku miryango gusattizza abatuuze

Omusaayi ogusiigibwa ku miryango gusattizza abatuuze

By Moses Lemisa

Added 13th June 2018

Ttula bali mu kusattira olw’abantu abatannategeerekeka abaagenze bayiwa omusaayi ku mayumba g'omu kitundu.

Ata 703x422

Ampadde ng’alaga abatuuze engeri ababbi gye baggula amadirisa ne layini z’essimu.

Amayumba agasoba 40 poliisi ge yasanze nga gayiiriddwaako omusaayi n'etwalako ogumu okugiyambako mu kunoonyereza.

Mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, abatuuze b’e Ttula mu muluka gwa Kawempe II mu munisipaali y’e Kawempe baagenze okweggulira ng’amaaso gakuba ku musaayi ogwayiiriddwa mu miryango gyabwe.

Baayise poliisi eyakulembeddwaamu Dan Ampadde ne bayoola ogumu ku musaayi guno ne bagutwala okwongera okunoonyereza .

Embeera eno yatadde ekyalo ku bunkenke ekyawalirizza abakulembeze okukuba olukiiko mwe baayitidde poliisi y’e Ttula okusalira awamu amagezi ku nsonga z’ebyokwerinda.

Abatuuze baategeezezza nti kandiba akakodyo k’abatemu abagenda bawamba abantu ne babatta okuwuddiisa ebitongole ebikuumaddembe.

Abamu ku batuuze abaayiriddwa omusaayi ku mayumba kuliko Annet Namaggwa , Sarah Nassimbwa , Kironde Mubiru, Sam Kelonde, Livingstone Ssekamwa, Nabyonga, Paul Kyambadde, Tonny Kavulu, Issa Muteesasira, n’abalala.

“Omusaayi ogwayiiriddwa ku mayumba gaffe gututadde ku bunkenke kuba tubadde tuwulira bibaluwa kati tetumanyi oba be bantu be bamu nga balina ekipya kye baleeta kuba singa omusaayi baguyiwa ku nju nga ssatu tetwanditidde nnyo naye amayumba 40! Waliwo misoni,” Kavulu bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti abatuuze abamu tebaagala kudduukirira ng’abamenyi b’amateeka bayingiridde baliraanwa baabwe nga kino kiwadde ababbi okugenda mu maaso okubba abantu nga kati kyaasaliddwaawo buli mutuuze okugula ffirimbi.

POLIISI KY’EGAMBA

Ampadde yasinzidde mu lukiiko n’agumya abatuuze. N’ategeeza nti tebasaanye kutya, poliisi ensonga z’ebyokwerinda mu kitundu kino, ekyazisobola. Yalabudde abakazi n’abaana okwewala okutambula bokka ekiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bg5 220x290

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018...

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018 gugguddwaawo e Lugogo: Gwakumala ennaku 3

Laba 220x290

Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e...

OMUSUMBA Mathias Ssekamaanya ayimbye Mmisa e Bungereza n’akuutira Bannayuganda ababeerayo okunyweza obumu.

Ltd 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE ...

Bazudde ebipya ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi ebiwuniikiriza. Mulimu ebikyuse mu nnaku 100 Ochola z’amaze...

Whatsappimage20180622at25800pm 220x290

Balaze emibiri mu mwoleso gwa Bride...

Ebyana biwala biraze emibiri ku mukolo gw'okuggulawo omwoleso gwa Bride and Groom ogutegekeddwa Vision Group ku...

Lindwa 220x290

Mulindwa bamuloopedde abazannyi...

VIPERS olwawangudde ekikopo kya Azam Uganda Premier League, abamu ku bazannyi baayo ne bateekawo obukwakkulizo...