TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekibadde mu maka ga Nambooze e Mukono nga poliisi emukwata

Ekibadde mu maka ga Nambooze e Mukono nga poliisi emukwata

By Henry Nsubuga

Added 13th June 2018

Ekibadde mu maka ga Nambooze e Mukono nga poliisi emukwata

Mo1 703x422

Omubaka Nambooze nga nga poliisi emuggya mu maka ge e Mukono

OMUBAKA wa palamenti owa munisipaali y'e Mukono Betty Nambooze Bakireke poliisi emukutte oluvannyuma lw'okuzingako amaka ge okumala ebbanga n'emutwala.

 

Poliisi abadde eduumirwa DPC w'e Mukono Rogers  Sseguya emaze essaawa nga nnamba ng'eyogereza Nambooze okumutwala.

Oluvannyuma akkirizza n'twalibwa mu kifo ekitannategeerekeka wadde nga kiwuliddwa mu kafubo kaabwe mbu bamutwala ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli gye bagenda okumusoyeza  kajjogijjogi w'ebibuuzo eyekuusa ku ngeri omubaka wa Arua Munisipaali Ibrahim Abiriga gye yatemuddwamu ng'akubibwa amasasi agaamuttiddewo n'omukuumiwe wiiki ewedde.

Nambooze agendedde mu mmotoka ye ng'evugibwa bba,  Henry Bakireke nga muno era mugebdeddemu abasirikale abakyala 2 ababadde bamukuuma.

Abantu babadde batandise okukungaana nga beebuuza ekituuse ku mubaka waabwe, DPC Sseguya ayogedde nabo n'abategeeza nti omubaka talina buzibu bwonna. Bano bavuniridde ekikolwa kya poliisi eky'okusasamaza abantu n'etuuka okuvumbiikiriza omubaka waabwe ng'omubbi w'enkoko sso nga bandimuyise ne yeetwala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hot2 220x290

Bawawaabidde ab’e Mukono lwa bajeti...

Bawawaabidde ab’e Mukono lwa bajeti

Gat2 220x290

Pulezidenti Museveni alambudde...

Pulezidenti Museveni alambudde oluguudo lwa Soroti - Moroto

Deb2 220x290

Omwana eyabuziddwawo asattizza...

Omwana eyabuziddwawo asattizza abazadde

Got2 220x290

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa...

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Mim1 220x290

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde...

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala