TOP

Sinnakwatibwako - Kale Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2018

Eyali omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura avuddemu omwasi ku bibadde biyiting'ana ku mikutu gy'amawulire egyenjawulo nti yakwatiddwa eggye lya SFC.

Gulawo703422 703x422

Gen. Kale Kayihura

Eyali omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kale Kayihura avuddemu omwasi ku bibadde biyiting'ana ku mikutu gy'amawulire egyenjawulo nti yakwatiddwa eggye lya SFC.

Kayihura agamba nti amaze ebbanga nga yeebalama abaamawulire, naye era basigala bamuwandiikako ebitaliiko mutwe na magulu.

Agasseeko nti ye tannakwatibwako, ali mu ffaamu ye e Lyantonde alima n'okulunda ensolo ze.

Ategeezezza omusasi wa New Vision nti ye ne bwe kiba nga bamusibya y'anaaba asoose okuggalirwa?  N'agamba nti bwe kiba nga kituufu baamuggalidde amagye ge gandisoose okuvaayo ne gategeeza eggwanga.

Ye omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire agambye nti naye obwedda awulira ng'ambo ziyiting'ana ku mikutu egyenjawulo ku Facebook, Twitter ne Whats App ne yeewuunya lwaki abantu basaasaanya amawuklire ag'obulimba!

Brig. Karemire ayongeddeko nti byonna ebywandiikiddwa si bituufu wabula lugambo lwa 'Social Media' olutaliiko mutwe na magulu.

Ate omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima bw'abuuziddwa ku biriwo agambye nti tekimukakatako kwogera ku kukwatibwa kwa Kayihura era ssi buvunaanyizibwa bwe, n'olwekyo talina ky'ayinza ku kyogerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat2 220x290

Pulezidenti Museveni alambudde...

Pulezidenti Museveni alambudde oluguudo lwa Soroti - Moroto

Deb2 220x290

Omwana eyabuziddwawo asattizza...

Omwana eyabuziddwawo asattizza abazadde

Got2 220x290

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa...

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Mim1 220x290

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde...

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala

Pop1 220x290

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu...

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu