TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyazaala bannamagoye 6 anyumya by’ayiseemu okubakuza

Eyazaala bannamagoye 6 anyumya by’ayiseemu okubakuza

By Sarah Zawedde

Added 13th June 2018

NGA tutegeka okukuza olunaku lwa bannamagoye olwaleero nga June 13, lunaku lwa mu nsi yonna ng’emikolo giri ku Busoga square e Jinja. SARAH ZAWEDDE yayogedde n’omukyala eyazaala bannamagoye mukaaga ng’alojja obuzibu bw’ayiseemu okuba-

Funa1 703x422

JOWERIA Nabirye 43, bwe yazaala omwana we asooka nga nnamagoye, kata obufumbo bumufe kubanga bba yamugaana okudda mu maka gaabwe. Leero baakazaala abaana 10 nga mukaaga ku bano bannamagoye.

Bano batuuze ku kyalo Nabukosi mu muluka gwa Nawampanda mu ggombolola ya Butagaya mu disitulikiti ye Jinja. Nabirye ng’ajjukira by’ayiseemu n’abaana be bano anyumya nti;

“Bwe natuusa okuzaala nagenda ewa maama- Matilida Namuganza ne ssenga Lovinsa abanzaalisa. Nazaala omwana muwala nga nnamagoye. Kyokka baze olw’amutegeeza ekika ky’omwana gwe nzadde yasooka kunziyiza okudda mu maka ge era n’agaana okutuuma omwana erinnya.

Wabula abantu abakulu baamutuuza n’anzikiriza okudda awaka. Ku muwala waffe twazzaako abaana abatali bannamagoye basatu ate ne tuzaala bannamagoye abalala bana ababaddako.

Twazzaako abalongo okwali nnamagoye. Wabula nnamagoye yafa era twasigazaawo Nakato. Abamu mbazaalidde waka ate abalala mu malwaliro kyokka lumu nazaalira omwana wange Sadat mu ddwaaliro lya Bubulo omusawo eyali anzaalisa n’adduka ng’alaba omwana atuuse .

Yayita musawo munne omulala eyannyambako okuzaala obulungi omwana n’amuyonja oluvannyuma n’amusiba mu bugoye bulungi. Okusooka saalina buyambi naddala obw’ebizigo bye tubasiiga wabula mu kiseera kino twayingira ekibiina kya ‘Source of the Nile Union of persons with Albinism’ SNUPA nga be bampa ebizigo n’obuyambi obulala.

Kata bababbe Tusanze okusoomoozebwa okukuza abaana baffe bano naddala ensusu zaabwe kuba zaakwegendereza. Bw’obatwala okulima omusana ne gubookya bagenda okuvaayo ng’omubiri gwonna gulungudde.

Bwe balwala kyetaaga okubatwala mu ddwaaliro mu bwangu kubanga bw’otokikola omubiri gwokya ekiyitiridde ekiyinza okuvaako ate obulwadde obulala. Abaana bano ntambula nabo ekiseera kyonna olw’okutya okubabba.

Omwaka oguwedde abantu abataategeerekeka baatulumba mu maka gaffe nga twebase kyokka ng’omwami wange taliiwo ne baagala okubabba.

Ennyumba yaffe yali tennaba kuggwa bulungi era baagenda butereevu ku kisenge ky’abaana ne bapangulula bbulooka zonna ze twali tuzizise mu ddirisa era baawonera watono okubbibwa.

Abaana bange bwe bagenda mu saluuni okubasalako enviiri wabaawo abazirindiridde okuzitwala.

Okumanya abakkiririza mu malogo batuli bubi, gye buvuddeko omuntu yantuukirira mmuguze enviiri n’enjala bye nsaze ku mwana wange ku 30,000/-. Kino kyantiisa era sikyabatwala mu saluuni wabula bwe mbasalako enviiri nzisuula mu kabuyonjo.

TAATA W’ABAA NA BY’AGAMBA

Issa Mutenda, taata w’abaana yagambye nti okusooka okugaana omwana waabwe asooka yali talabangako ewaabwe nga bazadde nnamagoye. “Wabula oluvannyuma bantegeeza nti nnamagoye twali tumulina ebukojja wabula yafa nga nange simulabyeko.

Nakkakkana ne ntandika okulabirira abaana bange era omukulu Lukiya yafumbirwa ng’awezezza emyaka 22. Balina obuzibu nti tebalaba bulungi era mu kibiina balina kutuula mu maaso,” bw’agamba.

SSENTEBE W’E KIBIINA KYA BA NNAMAGOYE

Peter Ogiki, ssentebe w’ekibiina ekigatta bannamagoye yagambyen nti tebalina njawulo na muntu mulala, ekibaawula ye langi gye batalina efuula olususu okuba oluddugavu.

Yagambye nti omulamwa gw’omwaka gino gugamba nti, “Shining our light to the world.” “Tugenda kugaba omusaayi n’okubagabira ebizigo ebibayambako okuziyiza omubiri gwabwe okwokebwa obutereevu omusana.

Ekicupa ky’ebizgo bino kiri ku 150,000/- wabula tubibawa ku bwereere. Ebizigo bino tubifuna okuva mu mikwano gyaffe aba Advantage Africa -UK.

Babitutonera naffe ne tubigabira bannamagoye. Ekizigo kino asobola okukyesiiga okumala emyezi ebiri .Wabula tusaba gavumenti etuyambeko okusobola okuteekawo ekyuma ekikola ebizigo bino mu ggwanga ekijja okuyambako okukendeeza ku bbeeyi yaabyo .

Tubawa gaalubindi n’enkoofiira n’engoye empanvu okusobola okukuuma emibiri nga gibikkiddwa bulungi.

Wadde bangi bakyakukulira abaana n’okubasuula naye tugezaako okubasomesa naddala abazadde abasajja baleme okudduka ku bakyala baabwe nga bazadde bannamagoye.

Tubasomesa nti okuzaala nnamagoye obutoffaali obw’omukyala n’omwami bwonna bubeeramu akalandira ka nnamagoye. Bannamagoye bakyayigganyizibwa abantu abalina endowooza y’okubasaddaaka nga balowoza nti bavaamu obugagga ekyongedde okutiisa abazadde.

OMUSAWO AYOGEDDE

Omusawo Mansun Ngobi yategeezezza nti obulwade obusinga okutawaana bannamagoye bwa kkansa w’olususu. Bangi babadde bafa nga tebannaweza myaka 40 olwa kkansa w’omubiri naye olw’obujjanjabi n’ebizigo ebibaweebwa, ekizibu kino kigenda kikendeera.

Bafuna mangu amabwa ku mubiri, omumwa n’emabega w’ensingo. Tubagamba okujjumbira okwambala enkoofiira engazi okwewala omusana okubookya omutwe n’ensingo.

Kyandibadde kirungi okwekebeza bw’oba ova famire erimu nnamagoye nga bw’ozuula gw’owasa nti alinamu omusaayi guno okumuleka mwembi bwe mubaamu akasaayi kano emikisa mingi okuzaala nnamagoye.

Abazadde tubasaba baleme okubakweka mu mayumba babatwale ne ku masomero basome.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bg5 220x290

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018...

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018 gugguddwaawo e Lugogo: Gwakumala ennaku 3

Laba 220x290

Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e...

OMUSUMBA Mathias Ssekamaanya ayimbye Mmisa e Bungereza n’akuutira Bannayuganda ababeerayo okunyweza obumu.

Ltd 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE ...

Bazudde ebipya ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi ebiwuniikiriza. Mulimu ebikyuse mu nnaku 100 Ochola z’amaze...

Whatsappimage20180622at25800pm 220x290

Balaze emibiri mu mwoleso gwa Bride...

Ebyana biwala biraze emibiri ku mukolo gw'okuggulawo omwoleso gwa Bride and Groom ogutegekeddwa Vision Group ku...

Lindwa 220x290

Mulindwa bamuloopedde abazannyi...

VIPERS olwawangudde ekikopo kya Azam Uganda Premier League, abamu ku bazannyi baayo ne bateekawo obukwakkulizo...