TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebintu 10 abawala bye basinga okwetaaga ku balenzi

Ebintu 10 abawala bye basinga okwetaaga ku balenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2018

ABAVUBUKA bangi ennaku zino balemereddwa okukuuma abawala be baagala ng’abasinga beekwasa eky’obutaba na ssente wamu n’okwevuma abawala okuba abayaaye.

Work1 703x422

Fahad Bossa ne Shillah Nakyanzi abatuuze b’e Bwaise nga bali mu biseera byabwe eby’eddembe. Bagamba nti omukwano gwabwe buli olukya gweyongera kuba gwa maanyi.

Emirundi mingi obuzibu buva ku bo olw’okulemwa okumanya obuntu obutono obwo abawala bwe baagala ne beekanga nga babaleseewo ne banoonya abalala.

Omuvubuka ow’omulembe teyetaaga kuba na ssente okukuuma omuwala mu mukwano nga tawankawanka, wabula kye yeetaaga kumanya ebintu ebikulu abawala bye basinga okwagala mu balenzi ebiteetaagisa na ssente era ebikulembera ekkumi bye bino wammanga.

1. Okubasiima Abavubuka bangi baagala nnyo okubasiima nga balina ekintu kye bakoze kyokka bo ne beerabira nti ssinga basiima bannaabwe abawala nabo banyumirwa era kyongera okwagala kwabwe gye bali.

Okugeza omuwala ne bw’aba akyadde ewuwo n’osanga ng’akwoleza ku ngoye oba ayozezza bintu mulage nti osiimye era ne bwe muba mwesanyusizzaamu nga wasiimye nkukakasa ajja kwongera okukwagala era n’ebinene ebirala ajja kubikukolera wadde kibadde kimukakatako okukikola.

2. Okubakkiririzaamu Abavubuka abasinga batera okuyisa amaaso mu bawala be baba baagala nga ne bw’amulaba ng’aliko kyakoze oba kyategeka okukola takitwala ng’ekikulu kuba amanyi ye muwala talina ky’amakulu kyalina kukola.

Ekintu kino kiruma nnyo abawala songa bw’omulaga nti omukkiririzaamu by’akola addamu amaanyi era alabanga akwetaaga mu bulamu bwe.

3. Baagala ‘busapulayizi’ obutono. Abavubuka bangi balowooza nti omuwala okumukolera ‘sapulayizi’ weetaaga kumukolera mbaga oba kumugulira mmotoka, ekitali kituufu kuba ebimu ku birabo bino n’abawala abamu tebabyesiga olw’ebitera okubivaamu.

Omuwala akwagala ebya ddala anyumirwa okumuwa busapulayizi obutono ng’obumuli, obukuufu kuba amanya nti akantu ako wadde katono k’omwagaliza era akatwalanga kikulu okusinga bw’obeerawo ng’omusuubiza poloti gy’otoomugulire.

4. Baagala okwogerezeganya nabo. Ekimu ku bintu abawala bye basinga okwagala kwogera n’abalenzi baabwe ku nsonga ezibabobya emitwe ate ne babawuliriza wadde buli ky’akugamba oba togenda kikola. Yogerezeganya naye wakwetaagira oleme kumuleetera kujulirira kufuna webbali gw’aba ayogerezeganya naye.

5. Okufiibwako. Omuwala okumufaako tekitegeeza kumugulira mmere na kusasula mazzi waka ng’omazze wabula omuwala yeetaaga omufaako mu ngeri ey’enjawulo, okugeza faayo olabe ku mulimu gy’akolera, embeera gyabeeramu, olunaku engeri gyalumalamu, bizibu ki by’asanga mu lunaku omuwe ku magezi we yeetaaga olage nti ofaayo gy’ali. Wano ajja kukwagala nga tayoya wadde omukwano omulala

6.Okukola nabo emirimu Abavubuka abasinga batera nnyo okulekera abawala emirimu naddala egy’awaka bo ne batuula wali ne babatunuulira nga bawoza nti mirimu gy’abawala ekitali kituufu kuba abawala banyumirwa nnyo okukolera awamu emirimu n’abalenzi baabwe.

Okugeza bw’aba asiimuula nnyumba anyumirwa akulabe nga gwe oyoza bintu, bw’aba agolola gwe teeka obutimba mu madiriisa, oyo omuwala ne bwebanaamusimbako benzi gy’otalina talina gy’ajja kugenda kuba anyumirwa obulamu bwalimu naawe.

7. Baagala okuyimirirawo ku lwabwe Wadde abantu bonna baagala nnyo okubabeererawo naddala mu biseera by’ebizibu naye bwe gutuuka ku muwala ne kakutanda n’otomufaako mu biseera by’okugezesebwa, okugeza ssinga omuwala abaako emisango gy’alimu gwe omulenzi we mu kifo ky’okumubeerawo ng’omuwolereza ate n’omuwaayo buwi tayinza kulabanga omuvubuka gw’alina okuba naye ne bw’oba omuwa ebikapu bya ssente.

8. Abawala beetaaga okusanyusibwa. Okusanyuka kintu kikulu nnyo eri obulamu bw’omuntu wadde kino abavubuka abamu tebakimanyi, nga bayitiriza okubeera ennyo siriyaasi n’okweteekamu olukungu olungi mu maaso g’abawala be baagala.

Oyinza okwekanga nti bukyanga abeerawo tafunangako budde na munne na kumunyumiza ku buboozi obusobola okumusesa songa buli muwala abeera yeetaaga omulenzi oyo asobola okuggyamu akaseko abalala ke batasobola kumuggyamu ate nga tekyetaagisa ssente.

9. Beetaaga okubasitula bwe baba bagudde Nga bwekiri mu butonde nti omukyala yatondebwa mu lubiriizi lwa musajja bwatyo omukyala bwe yetaaga okuwanirirwa wamu n’okusitulwa abasajja naye kino abavubuka abamu tebakimanyi nga ne bw’alaba omuwala gw’ayagala ng’agudde mu ngeri emu oba endala mu kifo ky’okumuyambako asituke ate adda mu kumunenya bunenya songa yandibadde amuyamba kuddamu kusituka.

10. Baagala nnyo obubaka obuwandiike Kituufu okukuba essimu kirungi eri omuwala gw’oyagala naye bw’onoonyereza abawala abasinga banyumirwa nnyo obubaka bwa ‘masegi’ okusinga amasimu.

Ky’ova olaba nti omuwala asobola okwogera n’omulenzi we ku ssimu nga taseka kyokka n’amuweereza akamesegi n’abugaana essanyu wadde ng’obubaka emirundi egimu bubeera bwe bumu.

Abawala abasinga bagamba nti olumu ku bubaka obuwandiike balina ebigambo bye basobola okugamba abaagalwa baabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bg5 220x290

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018...

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018 gugguddwaawo e Lugogo: Gwakumala ennaku 3

Laba 220x290

Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e...

OMUSUMBA Mathias Ssekamaanya ayimbye Mmisa e Bungereza n’akuutira Bannayuganda ababeerayo okunyweza obumu.

Ltd 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE ...

Bazudde ebipya ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi ebiwuniikiriza. Mulimu ebikyuse mu nnaku 100 Ochola z’amaze...

Whatsappimage20180622at25800pm 220x290

Balaze emibiri mu mwoleso gwa Bride...

Ebyana biwala biraze emibiri ku mukolo gw'okuggulawo omwoleso gwa Bride and Groom ogutegekeddwa Vision Group ku...

Lindwa 220x290

Mulindwa bamuloopedde abazannyi...

VIPERS olwawangudde ekikopo kya Azam Uganda Premier League, abamu ku bazannyi baayo ne bateekawo obukwakkulizo...