TOP

Ensonga endala ezaakwasizza Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 14th June 2018

Ensonda zaategeezezza nti Kayihura yakwatiddwa olw’ensonga eziwera kyokka ezisinga kuliko okwetwala nga kiwagi.

Kwata 703x422

Gen. Kale Kayihura eyakwatiddwa

Okuva lwe yagobwa ku bukulu bwa poliisi n’awaayo ofi isi mu butongole yagenda ku faamu e Lyantonde nga March 15, okuva olwo teyeeyanjula mu magye. Ekiwandiiko ky’amagye kyagambye nti Kayihura akyaweereza mu UPDF nti kyokka abadde yalemera e Lyantonde okuva nga March 15.

Kigambibwa nti Museveni abadde atuuza enkiiko z’ebyokwerinda nga n’olwasembyeyo yayise Bofi isa bonna okuva ku ddaala lya Brigadier okutuuka ku Bagenero kyokka era Kayihura n’atalinnyayo.

Wano amagye kwe kugoberera enkola yaago ey’omuduumizi okuyita Gen. Kayihura yeeyanjule era n’amuweereza n’entambula. Ensonga ndala yeekuusa ku kufa kwa Andrew Kaweesi.

Obujulizi obukung’aanyiziddwa ku Kaweesi bulaga ng’olukwe lw’okumutta lwakolebwa munda mu poliisi. Ekirala ekireeta Kayihura mu nsonga zino bye bigambibwa nti fayiro ya Kaweesi yakwatibwa bubi, bingi ebyalina okukolebwa okunyweza abatemu ne birekebwa ebweru.

Ekirala waliwo obujulizi okuli Lt. Godfrey Galabuzi Musisi ow’e Namugongo akissa ku Kayihura nti yamutumira abantu ng’ayagala kumuwa ssente alumirize Tumukunde nti yali mu lukwe lw’okutemula Kaweesi. Kigambibwa nti waliwo abaakwatibwa ku biragiro bya Kaweesi ne babasuubiza ssente bakkirize nti beenyigira ku by’okutta Kaweesi.

Ensonda zaategeezezza nti ebintu okutabuka kyaddirira okukwata omuserikale Abby Kitagenda eyali owa Flying Squad agambibwa nti y’omu ku baatemula Kaweesi.

Ono kwagattiddwaako ofi isi omulala Moses Kasiba naye wa Flying Squad (ono Kaweesi ye yamugoba). Kigambibwa nti bano be baliko bye baayogedde eby’omunda ebyavuddeko okukwata Kayihura yennyini ne bofi isa abalala bonna awamu 14.

Bano beegasse ku balala abaasooka okutwatibwa okuli Nixon Agasirwe, Joel Aguma, Benon Atwebembeire, Sgt Abel Tumukunde, Faisal Katende ne Amon Kwarisima Abamu ku baakwatiddwa, waliwo omusajja eyasooka okukwatibwa ku by’okutta Kaweesi ayitibwa Rasta eyalumiriza abamu ku banene ba poliisi abaatuula mu lukiiko ku Kati Kati e Lugogo ne bateesa okutemula Kaweesi.

Mu lukiiko luno, kigambibwa nti mwalimu ne muninkini wa Kaweesi ayitibwa Christine Mbabazi Muhoza mu kiseera kino akuumirwa mu maka ge e Lungujja, Kitagenda, Kasiba n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...