TOP
 • Home
 • Amawulire
 • Ebizibu Kayihura by'azze afuna: Byasajjuka mu 2017

Ebizibu Kayihura by'azze afuna: Byasajjuka mu 2017

By Musasi wa Bukedde

Added 14th June 2018

EBIZIBU bya Gen. Kale Kayihura byasajjuka mu March 2017 oluvannyuma lw’okutemulwa kw’eyali omwogezi wa poliisi AIGP Andrew Felix Kaweesi.

Yani 703x422

Kayihura

Mu kukungubagira Kaweesi e Kulambiro, Pulezidenti Museveni we yasinziira n’ayatulira Kayihura nti mu poliisi gy’aduumira mulimu abamenyi b’amateeka abaasensera era nga beenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Ebizibu byajja bikula ne byetabikamu ebijambiya e Masaka, okutta abakazi e Ntebe ne Nansana.

Ebintu byayongera okumutabukira mu October 2017 amagye bwe gaatandika okukwata boofiisa ba poliisi okwali Nixon Agasirwe eyali akulira ebikwekweto eby’enjawulo mu poliisi (SOU), ACP Joel Aguma eyali akulira ekitongole ekikwasisa empisa mu poliisi n’aba poliisi abalala okwali ne Faisal Katende abagambibwa nti baakwatanga abanoonyi b’obubudamu okuva e Rwanda ne babawaayo mu mikono gya gavumenti ya Pulezidenti Paul Kagame.

Bino byawerekerwa okukwatibwa kwa Abdallah Kitatta ne banne mu kabinja ka Bodaboda 2010 mu January 2018, ate nga bano Kayihura yali yabasiima bwe yali mu Palamenti nti bamuyambyeko nnyo mu kukuuma obutebenkevu mu Kampala n’okulwanyisa abeekalakaasa.

Ebizibu ebyo byonna byetabikamu akakuubagano wakati we ne Lt. Gen. Henry Tumukunde eyali Minisita w’obutebenkevu, okukkakkana nga bombi basuuliddwa nga March 4, 2018.

EBIZIBU KAYIHURA BYE YAJJA AFUNA:

 • March 9, 2018 Pulezidenti Museveni yasinziira ku mikolo gy’olunako lw’abakozi n’agamba ni kawuukuumi abadde mu Poliisi yamuggyemu, olwo waali waakayita ennaku ttaano ng’agobye Kayihura ku buduumizi bwa Poliisi.
 • February 4, 2018: Pulezidenti Museveni yayogera ku mbiranye wakati wa Kayihura ne Minisita Lt. Gen. Tumukunde n’abalabula obuteerowoozaako ng’abantu n’asuubiza okubaako ky’akola singa tebeddako.
 • May 2017: Waaliwo okugugulana wakati wa Poliisi, n’ebitongole ebikessi nga ISO ne CMI ku ani ateekedwa okukulemberako okunoonyeeza ku kutemulwa kwa Kaweesi. l June 2017: Museveni yaddamu okulagira Kayihura okugogola Poliisi kubanga lipoota z’afuna ziraga nti abamenyi b’amateeka n’abazzi b’emisango bangi abali mu poliisi
 • March 20, 2017: Pulezidenti Museveni yasinziira e Kulambiro mu maka g’omugenzi Kaweesi n’alagira Kayihura okugogogola Poliisi aggyemu abamenyi b’amateeka abaasensera ekitongole oba ssi ekyo ye ajja kumuyamba okugimugogolera.
 • September 2017: Kayihura yasinziira e Mubende mu lukiiko lw’abakulembeze aba Gavumenti Ezeebitundu n’agamba nti ne bw’agobwa ku buduumizi bwa Poliisi, tekitegeeza nti kinaamalawo obumenyi bw’amateeka naddala ettemu mu Uganda.
 • June 2016: Kkooti e Makindye yalagira Kayihura ne bofiisa ba Poliisi okweyanjula ku misango egy’okukuba abantu emiggo n’okubatulugunya.
 • Aug 10, 2016: Ekibinja ky’abawagizi ba Kayihura nga bakuleddwamu Abdallah Kitatta n’aba Bodaboda 2010 baasalako kkooti e Makindye nga bawera okufiira mu muntu yenna ayagala okumutwala mu kkooti era abamu baalina ebipande nga bagamba nti Kayihura gwe baagala ku Bwapulezidenti bwa Uganda nga Museveni avudde mu buyinza.
 • March 17, 2017: Omwogezi wa Poliisi, Andrew Felix Kaweesi yatemulwa mu ntiisa emisana ttuku era Kayihura y’omu ku basooka mu kifo we yatemulirwa e Kulambiro n’ategeeza nti abaamusse bayeekera ba ADF.
 • April 24, 2017: Ku ntikko y’abeebijambiya abaali batta abantu e Masaka n’ebitundu bya Buganda ebirala Kayihura yagenda mu bitundu abantu gye baali batemeddwa ebijambiya n’abakakasa nti ababadde babatigomya abakutte kyokka ettemu lyeyongera bweyongezi.
 • February 1, 2018: Eyali DPC w’e Buyende Muhammad Kirumira yayambalira Kayihura n’amulangira nti Poliisi emulemye olw’abantu abakyamu abamuli ku lusegere n’agamba nti Poliisi okutereera ng’eyiiriddwa okuva waggulu okutuuka wakatikkati.
 • March 4, 2018: Museveni yagoba Kayihura ne Tumukunde mu nkyukakyuuka ze yakola mu Poliisi ne Minisitule ey’obutebenkevu
 • March 15: Kayihura yawaayo ofiisi era y’alaga ebintu by’akoze mu bukulembeze bwe obw’emyaka 12 n’okusoomooza okusigaddewo omuli ebbanja lya buwumbi nga 165 n’obumenyi bw’amateeka era yalangirira nti ye azzeeyo mu magye kyokka n’asuubiza okugira ng’akola nga ‘Crime Preventer’ kubanga okulwanyisa obumenyi bw’amateeka buvunaanyizibwa bwa buli muntu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono