TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mufuti Shaban Mubajje akubirizza abasiraamu okukuuma empisa

Mufuti Shaban Mubajje akubirizza abasiraamu okukuuma empisa

By Muwanga Kakooza

Added 15th June 2018

Mufuti Shaban Mubajje akubirizza abasiraamu okukuuma empisa

Heb1 703x422

Mubajje ng'akulembeddemu abasiraamu mukusaala eid ku Old Kampala

MUFUTI Sheikh Ramatha Mubaje asabye Abasiraamu okukomya okwogeza obukambwe n’agamba nti kye kyandiba nga kivaako gavumenti n’abantu abalala okubalowooleza okuba abamenyi b’amateeka.

Mubajje era akubirizza Abasiraamu okukuuma empisa  n’agamba nti bwe baneeyisa obulungi teri ajja kubalowooleza kuba bamenyi b’amateeka era n’abakulembeze baabwe bajja kusobola okubawolereza singa baba bakwatiddwa

Yabadde ayogera mu kusaaza Iddi e Kampalamukadde n’avumirira ettemu erikudde ejjembe n’agamba nti kibeewunyisa okulaba ng’Abasiraamu be basinga okukwatibwa nga bagambibwa okubyenyigiramu ng’ate be bamu era abasinze okukosebwa ettemu.

 Yayongedde ekyewunyisa Abasiraamu ababa bakwatiddwa ne bwe bateebwa kkooti ate baddemu ne bakwatibwa eby’okwerinda ekintu kye yagambye nti ssi kya bwenkanya.

Yasabye ebitongole by’ebyokwerinda okusookanga okwekenenya nga tebanakwata bantu baleme kusibirwanga bwereere. Yagambye nti yasanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuvaayo n’agamba nti agenda kulwanyisa ettemu n’amusaba okweyambisa ebitongole bye ebikuumaddembe okukwata abatuufu...

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja