TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'entungo okulwanyisa kookolo n'okufuna omusaayi

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'entungo okulwanyisa kookolo n'okufuna omusaayi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th June 2018

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'entungo okulwanyisa kookolo n'okufuna omusaayi

Web1 703x422

Butto akamuddwa mu ntungo.

ENTUNGO entono (simsim), ‘Ababirooni’ be baasooka okuzirima mu nsi yonna. Ebyafaayo biraga nti zirina ensibuko ne mu buvanjuba bwa Afrika, era wano mu Uganda basinga kuzirima mu bukiikakkono ne mu bitundu by’ebugwanjuba. Mu kuzirya, abamu bazinyiga ne bazigatta n’ebinyebwa ne bakola ekipooli ate abalala balya nsiike ne bameketa ng’emberenge.

Wabula entungo buli lw’ogisiika ereeta ekirungo kya ‘oxalate’ ekitulemesa okuzifunamu era kireeta obuyinja mu nsigo n’akalulwe. Entungo okugifunamu olina kugirya nga mbisi, naye abamu ebasiinduukiriza emmeeme, kye tuva twakamulamu butto gw’okozesa n’ofuna emiganyulo gye gimu n’okusingawo, ng’alidde embisi.

Lumu omugagga Bill Gates bwe yali e South Afrika yabagamba okukozesa entungo n’okwongera okuzinoonyerezaako kubanga yali akizudde nti zizzaamu omusaayi ate nga ateeka ssente nnyingi mu Afrika okuyamba ku bantu abatagulina okugufuna.

Gino gye gimu ku migaso gy’entungo; lButto w’entungo azzaamu omusaayi, kitegeeza ayamba ku bakyala ab’embuto kuba bafulumya omusaayi mungi mu kuzaala, abaana abato n’abalwadde abayamba okufuna omusaayi kubanga alimu omunnyo gwa ‘iron’. Abawala abagenda mu nsonga nabo bafulumya omusaayi buli mwezi ate n’omunnyo guba gukendeera awo entungo e okuguzzaaamu.

 

lOmulwadde wa puleesa akuyamba okwoza amasavu amabi mu mutima. lMulungi mu kugumya amagumba, ky’ova olaba abantu b’engulu bagumu okusinga abalala kubanga balya ekipooli ky’entungo.

lAtta obuwuka obulwaza amannyo mu kamwa n’obugawumulamu ebituli. lAbakyala bannabukalu abayambako okufuna ag’emugga. lButto ayoza obutwa mu kibumba naddala obwo obuva mu kunywa omwenge n’abamira eddagala eringi.

lAlimu vitamiini K eyamba abakyala obutavaamu mbuto. Abakyala bavaamu embuto olw’obutaba na vitamini eno ate eyamba omuntu okuba nga tovaamu musaayi mungi ng’ofunye ekiwundu guba gukwata mangu.

lButto ayamba ku bantu abasumbuyibwa entunnunsin’abakyala emimwa ate ku baami abanafu mu kisenge abakolera olw’ekirungo kya zinc ekimulimu.

lAbalina emitima eminafu ng’omuntu atambulako katono n’atandika okuwejjawejja akuyamba okuguwa amaanyi lAbeesiba embuto, kozesa butto okulugonza obeere ng’ofuluma bulungi.

lAlimu enzayimu ya Q10, ekuyamba obutafuna butofaali buleeta kookolo. lAtawulira bulungi n’alina envumbo mu matu bw’omala okunaaba tonnyezzaamu butto n’oluvannyuma omuwunzike aveemu ajja kukuyamba bulungi. lAyamba ku bantu abalina situka n’ababutuka nga basibye enviiri.

Butto osobola okumulya ng’omufumbye oba ng’omusiize ku by’okulya. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...