TOP

Chagga bamusibye emyezi 6 mu kkomera

By Martin Ndijjo

Added 15th June 2018

Chagga maneja wa Goodlyfe bamusibye emyezi 6 ate omuyimbi Weasel aliira ku nsiko lwa kungaana kuyimba mu kivvulu nga basasuddwa

Big1 703x422

Chagga ng'atudde wansi ku kkooti e Luweero

EBYABAYIMBI ba Goodlyfe bibi! maneja  waabwe Chagga bamusibye emyezi mukaaga ate Weasel aliira ku nsiko lwa kugaana kuyimba mu kivvulu nga basasuddwa.

Nga bakawona okusibwa olw’okwebulankanya ne batayimba mu kivvulu ky’e Busia nayo gye baabasasula okuyimba ne batalabikako,

Eggulo (ku Lwokuna) omulamuzi Suzan Awid owa kkooti y’e Luwero yasindise Chagga mu kkomera e Butuntumula yeebakeyo emyezi mukaaga oba  okusasula 18,272,000/- ezibanjibwa aba Goodlyfe olw’okubapangisa okuyimba mu ku kivvulu e Luweero ne batalinnyayo.

 hagga ku kkooti e uweero Chagga ku kkooti e Luweero

 

Chagga yakwatiddwa oluvannyuma lwa Paul Kaliba, omutegesi w’ebivvulu okwekubira enduulu mu kkooti e Luweero  olw’abayimbi ba Goodlyfe okumwefuulira ne bagaana okuyimba ku kivvulu ke yali ategese mu ppaaka e Luwero n’awalirizibwa okukisazaamu ku ssaawa esembayo

ate bwe yagenda e Makindye okubatwalira empapula ezibayita mu kkooti ne bamutulugunya ne munne gwe yaali naye.

“Nga Apil 4, omwaka oguwedde nakola endagano n’aba Goodlyfe; Moze Radio (kati omugenzi), Weasel ne maneja Chagga  ya bukadde 5.5 okuyimba ku kivvulu kye nnali ntegese mu ppaaka e Luweero ku lunaku lwa Ssekukkulu (December 25).

Nabawaako 2, 600,000/-, bbalansi baali baakumufuna ku lunaku lwa kivvulu wabula ng’ebula omwezi gumu banneefuulire nga bagamba nti tebagenda kunkolera kubanga bafunye omulimu omulala, mu mbeera eyo nzikirize banzirize ssente ze nnali mbawaddeko ekintu kye nagaana kubanga nnali ntaddemu ssente nnyingi omuli ez’ebirango ku leediyo ne ttiivi, ebyuma, ekifo n’ebirala,” Kaliba bwe yategeezezza Bukedde.

 ekiwandiiko kya kkooti ekiragira okukwatibwa kwabayimbi ba oodlyfe ekiwandiiko kya kkooti ekiragira okukwatibwa kw'abayimbi ba Goodlyfe

 

Agasseeko nti ne Weasel anoonyezebwa kubanga kkooti y’emu eyisizza ebiragiro bya bakuntumye akwatibwe.

Abayimbi balwana kununula Chagga

Oluvannyuma lwa Chagga okukwatibwa ng’ate ne Weasel anoonyezebwa,  Jibril Muwonge mukwano gwa Chagga ategeezezza nga bw’amaze okutegeeza abayimbi ab’enjawulo bayambe bannaabwe.

Mu nteekateeka eno abayimbi okuli; Jose Chameleone, Bobi Wine, Mesach Ssemakula, King Saha n’abalala baagala Kaliba ayimbule Chagga olwo ategeke ekivvulu ekirala bayimbe asobole okwesasula ssente ze.

Kyokka Kaliba kino akigaanye ng’agamba takyasobola kuteekamu ssente ndala kutegeka kivvulu ayagala kumuliyirira ssente ze yabawa ne zeyateekamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze