TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooluganda lwa Kaweesi bawagidde eky’okukwata Kayihura

Abooluganda lwa Kaweesi bawagidde eky’okukwata Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2018

AMAGYE olwakutte Gen. Kale Kayihura ku Lwokusatu, famire y’eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, AIGP Andrew Felix Kaweesi, n’esambira mabega nga jjanzi ng’egamba nti Gavumenti w’ekutte weewo ku by’okutta omuntu waabwe.

Capture 703x422

Bya PASCAL LUTABI

AIGP Kaweesi yattibwa abazigu nga March 17, 2017 bwe yali ava mu makaage e Kkulambiro ng’okuva kwolwo Gavumenti ezze ekwata abantu ab’enjawulo, okutuusa ku Lwokusatu lwe yakute Gen. Kayihura ku nsonga ze zimu.

Aba Famire okuli Phina Bagenda, Vincenti Kayitana, nga bakulembeddwaamu Leo Ruhinda nga ye muto w’omugenzi Kaweesi, baategeezezza nti Famire weeri okuwa obujulizi kwebyo bye bamanyi ku by’okuttibwa kw’omuntu waabwe.

Ruhind agamba nti bazze beemulugunya ku ky’obutakwatibwa kwa Gen. Kayihura awamu ne basajja be okuli Nixson Agasirwe ne Jonathan Baroza okuviira ddala omuntu waabwe lwe yattibwa nga balowooza asaaga era balinze kuttunka n’abasajja bano mu kkooti.

Yagambye nti yasaba aweebwe omukisa okusisinkana Pulezidenti Museveni n’omuntu yenna gw’ayinza okumukwasa amuwe olukalala lw’abaserikale 25 nga kwe kuli ne basajja ba Gen. Kayihura baakozesa mu kutta awamu n’okuwamba abantu ekyatuuka n’okutwaliramu omuntu waabwe, nga newankubadde kwabo wakyaliyo abalala bataano abatannakwatibwa.

Ruhinda agamba nti obujulizi bw’alina ku basajja bano bwekuusiza ddala ku bintu omugenzi bye yajja amugamba, era yeewuunya nnyo ng’alaba omuntu waabwe attibwa kyokka nga yakanyanga kubategeeza kituufu nga tebamuwuliriza n’asaba ne Jonathan Baroza eyaddusibwa ebweru w’eggwanga okukomezebwewo awerennembe n’okutta omuntu waabwe.

Famire egamba nti yali yasalawo okuzira okugoberera abaasooka okukwatibwa n’abaasooka okutwalibwa mu kooti, olw’ensonga nti baakiraba nga bawudiisa ggwanga , naye kati obudde butuuse nga Bannayuganda bagenda kulaga enjawulo ebaddewo wakati w’ekkooti ezibaddewo n’ezigenda okubeerawo nga bawozesa abasajja abo.

Famire ayongera n’etegeeza nga bwe basaba abaali mu kikolwa ky’okutta omuntu waabwe okuvaayo mu lwatu beetonde, naye nga tebawulira nga balowooza nti bali waggulu wa Katonda, era wano we beebalizza akulira ekitongoole kya ISO awamu n’amagye olw’okunoonyereza okulungi ne bavaayo n’abantu abatuufu.

Famire egamba nti ebigambo by’okukwatibwa kwa Gen. Kayihura awamu ne basajjabe byekuusiza ddala ku ssaala ezizze zisabwa Rev. Fr. Matiya Kaamulegeya mu Mmisa ezizze zitegekebwa mu maka g’omugenzi e Kitwekyanjovu ku buli nkomerero y’omwezi okuviira ddala omuntu waabwe lwe yattibwa n’aziikibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...