TOP

Kanyama eyatta musangi we mu bbaala alaajanye

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2018

OMUVUBUKA Ivan Kamyuka eyakuba musangi we mu bbaala bwe baali balwanira omukazi yeeyamye okulabirira abaana b’omugenzi kkooti bw’emusingisizza omusango gw’okutta mu butanwa.

Genda 703x422

Ivan Kamyuka ng'ali mu kkooti

OMUVUBUKA Ivan Kamyuka eyakuba musangi we mu bbaala bwe baali balwanira omukazi yeeyamye okulabirira abaana b’omugenzi kkooti bw’emusingisizza omusango gw’okutta mu butanwa.

Kamyuka ng’ayita mu looya we, Henry Kunya ategeezezza kkooti nti mwetegefu okulabirira abaana b’omugenzi Jonny Ahimbisibwe bonna be yaleka kubanga n’omu gwe yali yazaala mu mukyala we Nina Nyarwaka (eyavaako obuzibu) y’abadde amulabirira.

Wabula kino omulamuzi Wilson Kwesiga akigaanye n’agamba nti asooke akkaanye n’abooluganda lw’omugenzi kuba bandiba nga nabo basobola okulabirira abaana. Okwogera bino yabadde asaba omulamuzi okumuwa ekibonerezo ekisaamusaamu mu kifo ky’okusibwa obulamu bwe bwonna.

Kamyuka abadde avunaanibwa omusango gwa butemu naye omulamuzi agambye nti okusinziira ku bujulizi obuliwo, yatta Ahimbisibwe mu butali bugenderevu kubanga yali ataasa mukyala we, Nina okuva ku Ahimbisibwe eyali amukuba.

Okusinziira ku bujulizi kkooti bwe yeesigamyeko okumusingisa omusango, omugenzi Ahimbisibwe ye yacookooza Kamyuka bwe yakuba mukazi we Nina era mu kumutaasa Kamyuka yakuba omugenzi n’afa. Bino byali mu bbaala ya Guvnor mu 2015.

Wabula omulamuzi agambye nti eky’okuba nga Kamyuka yali ataasa mukazi we tekimuggyaako musango kubanga yagenda okulwanagana n’omugenzi ng’olutalo wakati wa mukazi we ne Nina lwawedde dda ate yakozesa amaanyi mangi mu kumukuba ekyamuviirako okufa.

Kati kkooti erindirira nteeseganya wakati wa Kamyuka n’abehhanda z’omugenzi ku nsonga y’okulabirira abaana be olwo omulamuzi alyoke amuwe ekibonerezo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.