TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bayodde abanene abalala mu Poliisi ne baggalirwa ku by'okutta Kaweesi

Bayodde abanene abalala mu Poliisi ne baggalirwa ku by'okutta Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2018

AMAGYE gayodde basajja ba Gen. Kale Kayihura abalala mu kaweefube w’okukwata abo bonna abagambibwa nti balina akakwate ku kutemula Kaweesi n’obumenyi bw’amateeka obulala obuzze bubeerawo mu Kampala ne Wakiso.

Kaweesi703422 703x422

Omugenzi Kaweesi

Kigambibwa nti amagye galina olukalala lw’abantu ababadde bakola mu poliisi kyokka nga beenyigira mu bumenyi bw’amateeka be balina okukwata era nga kuliko boofiisa 25 ababadde beenyigira mu bikolobero.

Okuva lwe baakutte Kayihura ku Lwokusatu, amagye gongedde okukwata abaserikale abalala abagambibwa nti balina kye bamanyi ku ttemu erigenda mu maaso mu ggwanga.

Pulezidenti Museveni naye bwe yabadde ayogera mu kusoma Bajeti yalaalise okusaanyaawo abo bonna abatemula abantu n’agamba nti wadde kibadde kitutte ebbanga nga tekigonjoolwa, ku luno agenda kukigonjoola.

BAKWATIDDEMU BA MAJOR BASATU

Mu bantu abangi abaayooleddwa akawungeezi k’Olwokuna ne mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, kuliko abajaasi basatu abali ku ddaala lya Major kyokka nga baali baayingizibwa mu Flying Squad.

Baabakwatidde Wandegeya wamu n’abamu ku baserikale ababadde bakolera mu Flying Squad abagambibwa nti babadde beenyigira mu butemu n’obumenyi bw’amateeka obulala.

Abalala abaakwatiddwa kuliko abaakolako mu Flying Squad kyokka Kaweesi n’abawaliriza okuva mu poliisi.

Kaweesi ng’ayita mu buvunaanyizibwa obwali bumuweereddwa okukulira eby’abakozi mu poliisi, yawaliriza aba Flying Squad bangi okuddayo batendekebwe kubanga yali akizudde nti abamu tebaafuna butendeke busookerwako obubasobozesa okubeera mu poliisi ate abalala nga baali bamenyi b’amateeka ab’olulango.

Abamu baalayira obutaddayo mu kutendekebwa, ne basalawo waakiri okudda ebbali; kyokka kigambibwa nti baasigala bawera okubaako kye bakola omuntu gwe baayogerako ng’eyali “abazzizza mu kyalo!”.

Abalala abaagenda mu kutendekebwa nabo baagenda bakkukkuluma ate bwe baamaliriza okutendekebwa ne babaggya mu bifo ‘ebisava’ mwe baakoleranga ne babakanyuga mu byalo.

Okugeza Moses Kasibante eyeeyita Kasiba bwe yava mu kutendekebwa e Masindi, baamuggya mu Kampala mwe yali amaze ebbanga ne bamusindika okukuuma ffaamu e Kisozi!

Abamu ku be baasoose okukwata kuliko Herbert Muhangi eyabadde akulira Flying Squad, Col. Ndahura Atwooki eyali akulira ekitongole kya poliisi ekikessi, Richard Ndabwoine abadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango obukolebwa ku yintaneti, Siraje Bakaleke eyali aduumira poliisi mu Kampala South ne Jonathan Baroza agambibwa nti ye yatuma abasajja ababiri abaayoola omusaayi mu kifo we battira Andrew Felix Kaweesi e Kulambiro mu Kampala.

Baroza yali muyambi wa Gen. Kayihura ekiseera ekyo. Amagye gaasooka kukwata Nixon Agasirwe eyali akulira ebikwekweto eby’enjawulo, Joel Aguma eyali akulira ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa, James Magada, Faisal Katende n’abapoliisi abalala ne babaggulako emisango gy’okukwata abanoonyi b’obubudamu okuva e Rwanda ne babaddiza gavumenti ya Paul Kagame era abamu ne battibwa.

Nga baakatwalibwa mu kkooti y’amagye, looya waabwe yeemulugunya nti abantu b’awolereza baamutegeezezza nti babatulugunya nga baagala balumirize Kayihura nti yabatuma okutta Kaweesi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...