TOP
  • Home
  • Agawano
  • Fayiro y’owa Movit ku by'omuliro gw'e Budo ewedde

Fayiro y’owa Movit ku by'omuliro gw'e Budo ewedde

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2018

AKULIRA ekitongole kya ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda agambye nti bamalirizza kalonda yenna akwata ku fayiro y’omugagga Simpson Birungi nnannyini kkampuni ya Movit bagikwase poliisi eneegitwala mu kkooti.

Soma1 703x422

Birungi omugagga wa Movit ng'ali ne mukazi we Kyokusiima ku kabaga akamu gye buvuddeko

‘Ffe buli kyetaagisa okukola ku fayiro eno tukimaze ng’ekisigalidde mulimu gwa poliisi’, Kaka bwe yategeezezza.

Yagambye nti ssinga wabaawo ebisoba ku fayiro eno tebajja kuvunaanyizibwa bw’eneeba emaze okukwasibwa poliisi.

Ensonda mu ISO zaategeezezza nti fayiro eno erimu ensonga eziwerako okuli okuzuula abaayokya essomero ly’e Budo, eyabapangisa, wamu n’eyabatambuza okukola ekikolwa ekyo.

Abantu bano bonna, ISO ebalina era bwe yabafunye kwe yasinzidde okukakasa nti, omusango kati guyinza okutwalibwa mu kkooti kuba waliwo obujulizi obumala.

Omusango gw’okwokya abayizi 20 mu kisulo kya Nassolo ku Budo Junior, gubadde gumaze emyaka 10 okuva mu April wa 2008.

Omusango gwali gwafa nga ne fayiro yaggalwawo oluvannyuma lwa poliisi okubulwa obujulizi ku bantu abaakwatibwa, okutuusa ISO lwe yaguzuukusizza.

“Guno omusango gwali mwangu okunoonyerezaako wadde abaana 20 abaafa ennamba nnene, poliisi yandibadde esobola okugumaliriza naye olw’okubanga tebaakola buvunaanyizibwa bwabwe, y’ensonga lwaki twaguzuukusizza era abaakikola ne tubakwata,” ensonda mu ISO bwe zaategeezezza.

BAGUDDE MU LUKWE LW’OKUTTA ABASIBE MU KADUUKULU;

Abamu ku baasooka okukwatibwa, bakkiriza okukolagana n’ekitongole kya ISO okwogera amazima, awatali kirala okuggyako amazima ameereere ku bantu b’ebiti ebisatu, eyagula, eyapanga olukwe n’eyavuga abatemu.

Bano, ekitongole kwe kyesigamye okubakozesa ng’abajulizi wadde nga kikyetaaga abajulizi abalala ssinga babeera basobodde okubafuna.

Olukwe lw’okuttira abasibe mu kaduukulu lwabadde luyisiddwa mu omu ku bakozi mu ISO nga bamusuubizza 50,000,000/- ezaabadde zirina okumuweebwa ng’amaze omulimu.

Oluvannyuma lw’okukunya omuserikale ono yategeezezza bakama be nti, omuntu omu yali amusaba amuyambe awe abasibe abaakwatibwa obutwa bafi ire mu kkomera okusobola okubuza obujulizi.

Ddiiru y’obutwa bwe yalemye kwe kusalawo babatuge butuzi era abakulu mu ISO bwe baakiguddemu, omukozi waabwe ne bamuteeka ku nninga annyonnyole n’abategeeza nti, ssente yazifuna naye eyali amupangisizza yafera mufere yali tajja kwenyigira mu ddiiru eno.

Abasibe be baagala okutuga ye; Moses Lumu, Julius, Byamukama ne Kiggundu abeewaddeyo okuyamba ISO mu kuwa obujulizi ku by’okwokya Budo.

Kigambibwa nti ssente, okutuuka ku mukozi wa ISO, zaatambuzibwa omukazi eyategeerekeseeko erya Katusiime lyokka.

Ono ISO yamukwata n’agitegeeza nti, ye baamutuma kutwala ssente teyamanya mulimu gwazo.

MUKA BIRUNGI AKKIRIZIDDWA OKUMULABA;

Oluvannyuma lwa Sheila Birungi Kyokusiima mukazi w’omugagga okwekubira omulanga mu kkooti ng’ayagala ewalirize dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda okutwala bba mu kkooti, ISO yamukkiriza okulaba ku bba.

Ku Lwokusatu ISO yamukkirizza okugenda e Kyengera mu kaduukulu okukyalira bba omulundi ogusoose okuva lwe yakwatibwa wiiki ewedde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...