TOP
  • Home
  • Agookya
  • Kayihura agaanyi okwanukula bye bamubuuza

Kayihura agaanyi okwanukula bye bamubuuza

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2018

ABAJAASi abakunya Gen. Kayihura bakyasobeddwa. Okuva lwe baamutuusizza e Makindye, yagaanye okwanukula ebibuuzo byonna ebimubuuzibwa.

Langa 703x422

Ekkomera e Makindye Kayihura ne boofiisa ba poliisi abalala gye bakuumirwa.

Buli kye bamubuuza asirika busirisi, n’abatunuulira mu ngeri eraga okwewuunya.

Buli lwe bamulemerako ennyo, mu ngeri eraga okwewuunya ebigenda mu maaso, abaddamu kimu nti; “I cannot believe this” ekitegeeza nti, “Bino nga tebikkirizika”.

Ensonda zaategeezezza nti ekyasoose okwewuunyisa Gen. Kale Kayihura, kwe kumutuusa e Makindye era amangu ago ne bamuleetera ‘yunifoomu’ y’abajaasi be basibira mu kkomera ly’amagye lino.

Yunifoomu gye baamuleetedde yabadde mmyufu ng’eriko ennamba 017 era awo Kayihura n’alabika nga yeekanze.

Wadde mu kusooka yateeka obubaka ku mukutu gwe ogwa Twitter ng’ategeeza nti ne bw’anaaba asibiddwa, si y’anaaba asoose okuggalirwa; wabula embeera emwolekedde yalabise ng’agitidde.

Bwe baamusoosezza e Mbuya ku Lwokusatu, yasoose kugasimbagana n’omuduumizi w’amagye Gen. David Muhoozi (Genero munne), kyokka kyamubuuseeko okumutuusa e Makindye ne bamukwasa Col. William Bainomugisha n’atandika okumusoya ebibuuzo.

Kayihura asinga Bainomugisha amadaala ana; wabula ebyo kati tebikyayamba kubanga Bainomugisha akolera ku buyinza obwamuweebwa omuduumizi w’amagye ow’oku ntikko. Ensonda zaategeezezza nti Kayihura akyalina ekirowoozo nti Pulezidenti Museveni asobola okumuddiramu era okuva lwe yakwatiddwa abadde ategeeza abamu ku boofi isa nti ky’ayagala kimu kyokka kumuyamba asisinkane Pulezidenti nga tannabaako ky’annyonnyola kw’ebyo bye bamubuuza.

Omu ku bannamagye yategeezezza Bukedde nti boofi isa bangi abazze bakwatibwa basooka kweyisa mu ngeri yeemu ey’okusooka okugaana okwogera, era enneeyisa ya Kayihura mu kkomera tebeewuunyisizza.

Kyokka yagambye nti okuggyako nga Pulezidenti y’asazeewo n’ayita Kayihura ayogereko naye, bbo tebalina ntegeka emuyamba kumutuusa wa Pulezidenti kubanga obwo obuvunaanyizibwa si bwabwe.

Yagasseeko nti bagenda kumuwa obudde, era bakimanyi ajja kutuuka ayogere ku buli kye bamubuuza; kyokka obudde bwe banaaba bamuwadde bwe bunaggwaako, bajja kumuyisa mu nkola entuufu ezirambikibwa ku boofi isa ze babayisaamu okubawaliriza okwogera.

Kayihura yakwatiddwa ku Lwokusatu nga bamuggya ku ffaamu ye e Katebe, Kashagama mu disitulikiti y’e Lyantonde.

Baasoose kumukima ku Lwakubiri wabula kigambibwa nti yabadde ategedde nti enyonyi y’amagye ezze okumutwala, olwo kwe kusimbula n’akwata eridda e Mbarara.

Ng’ali mu kkubo, yategeezeddwa nti ebintu byonoonese batadde Loodibbulooka ku makubo gonna, olwo kwe kukyama ku Igongo Cultural Resort n’apangisa akasenge ne yeewogoma omwo.

Kigambibwa nti yabadde ategeka kutambula kiro avuge ng’ayolekera Kabale ng’akozesa akamotoka akatono, wabula ne bamutegeeza nti talina w’agenda kuyita amakubo gonna baagataayizza.

Abantu be baamuwadde amagezi agende mu nkambi y’amagye e Makenke, Mbarara yeeyanjule okwewala okuswazibwa ennyo.

Okukwata Kayihura kyabadde kifuuse kikwekweto kyennyini era ng’amagye gakituumye “Operation Arrest ADF” era nga balagidde Brig. Kayanja Muhanga okuyiwa abajaasi mu ttundutundu ly’e Mbarara n’enguudo zonna ezituuka ku nsalo.

Waabaddewo okutya nti Kayihura yabadde apanga kudduka afulume eggwanga.

Kayihura byonna bwe yabitegedde, yasazeewo ne yeetwala e Makenke, era abaddukanya enkambi ne bategeeza ab’e Mbuya, olwo ne baddamu okusindika ennyonyi y’amagye n’esimbula ku Airbase e Ntebe n’engenda n’emukima.

Lt. Gen. Wilson Mbadi ye yakulembedde abaakutte Kayihura okumutuusa e Mbuya.

Amagye gaafulumizza ekiwandiiko ku Lwokuna nga gategeeza nti Kayihura akuumirwa Makindye era bamubuuza ku nsonga ze batannayagala kwatuukiriza naye nga bajja kuzitegeeza eggwanga mu kiseera ekituufu.

Ensonda zaategeezezza nti olumu Kayihura bamuggyawo ne bamutwalako e Mbuya buli lwe wabeerawo ensonga abakulu gye beetaaga okumubuuzaako.

E Mbuya gye yasisinkanidde n’abamu ku baduumira eby’okwerinda omuli n’abo be yali atwala, ne batandika okumubuuza ebibuuzo.

Abaamubuuzizza kwabaddeko Gen. Muhoozi, Gen. Elly Tumwine minisita ow’obutebenkevu, Adolf Mwesige minisita w’ebyokwerinda, Brig. Abel Kandiho akulira CMI, Col. Frank Kaka Bagyenda akulira ISO kw’ossa abo be yali atwala mu poliisi okuli AIGP Abbas Byakagaba akulira okulwanyisa obutujju mu poliisi ne AIGP Grace Akullo akulira ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango mu poliisi ekya CID.

Ensonda zaategeezezza nti Kayihura bamubuuza ku bintu mukaaga nga muno mulimu eby’okukwata abanoonyi b’obubudamu ne babazzaayo e Rwanda era abamu ne battibwa, okukozesa obubi ofiisi, eby’okutemula abantu okuli AIGP Andrew Felix Kaweesi, Joan Kagezi, Maj. Mohammed Kiggundu n’engeri emisango bwe gyakwatibwamu wamu ne boofi isa b’abadde akola nabo abasukka mu 20 kyokka nga beenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Aba famire ya Kaweesi nga bakiikiriddwa mutoowe Leo Ruhinda baategeezezza nti baakola olukalala lw’aba poliisi abeenyigira mu kutta Kaweesi nga luliko abantu 25 nga n’erinnya lya Kayihura kweriri era nti beetegefu okumulumiriza mu kkooti nga beesigama ku muganda waabwe bye yali abategeezezza nga tebannamutta. Ku bantu abo, amagye kati gaakakwatako 17 wasigaddeyo munaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo