TOP
  • Home
  • Agookya
  • Kayihura bamwawudde ku Kitatta ne boofiisa abalala mu kkomera e Makindye

Kayihura bamwawudde ku Kitatta ne boofiisa abalala mu kkomera e Makindye

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2018

Ensonda zaategeezezza nti wadde Kayihura atwalibwa ng’omusibe, kyokka bakyamuyisa nga Genero ow’eggye lya UPDF. Baamuwadde omwaliiro ku kimu ku bizimbe by’ekkomera e Makindye we bamukuumira era baamwawudde ku basibe abalala okuli Abdallah Kitatta (eyali akulira Bodaboda 2010), Nixon Agasirwe ne boofiisa abalala be baggalira mu kkomera ly’amagye e Makindye.

Kalekayihura703422703422 703x422

Kale Kayihura

Ensonda zaategeezezza nti wadde Kayihura atwalibwa ng’omusibe, kyokka bakyamuyisa nga Genero ow’eggye lya UPDF.

Baamuwadde omwaliiro ku kimu ku bizimbe by’ekkomera e Makindye we bamukuumira era baamwawudde ku basibe abalala okuli Abdallah Kitatta (eyali akulira Bodaboda 2010), Nixon Agasirwe ne boofiisa abalala be baggalira mu kkomera ly’amagye e Makindye.

Kayihura baamusibidde ku ludda lumu, ate Kitatta, Nixon n’abalala bali ku ludda olulala era kino kyakoleddwa okwewala okutaataaganya okubuuliriza kubanga emisango bonna gye babavunaana gikwatagana.

Baamukkirizza okwogerako ne looya we Caleb Alaka ne mukyala we Angella Kayihura n’abaana era bamukkiriza n’okusoma ku mawulire.

Ku mwaliiro waggulu, abamukunya nabo gye bagenda era waliwo akasenge akalinga eddiiro awali entebe n’emmeeza, kw’atuula ne batandika okumubuuza era oluvannyuma abeera wa ddembe okugenda ne yeebaka mu kasenge akalala omuli akatanda n’omufaliso.

Omu ku baserikale yategeezezza Bukedde nti wadde Kayihura bamuwa ebyokulya n’ebyokunywa; wabula alyako katono nnyo kyokka ebyokunywa abinywa bulungi naddala amazzi.

Ebiseera ebisinga abeera mu birowoozo era alabika nga mweraliikirivu nnyo, wabula bwe batuuka okumubuuza ebibuuzo alabika nga mumalirivu era baba bamubuuza ng’ali mu kuluma mba!

Ekifo ekyo era w’alina okulabira abagenyi. Baasazeewo n’okumulekera emu ku ssimu, wabula talina kukuba okuggyako okukwata ezo ze baba bamukubidde; naddala ezo ez’abantu ab’enkizo; wabula emirundi egimu essimu Kayihura yennyini atera okugiggyako kubanga alina okutya nti okugimulekera baamuteze katego ka kwongera kukung’aanya bujulizi ku bantu b’ayogera nabo.

BAZZEEMU OKWAZA AMAKAAGE

Ku Lwokutaano, amagye gazzeemu okwaza amaka ga Kayihura e Muyenga mu Kampala.

Baamaze essaawa eziwera nga bagaaza era oluvannyuma baavuddewo ne bagenda.

Kigambibwa nti balina empapula ze baabadde beetaaga mu kunoonyereza kwe baliko era baavuddeyo n’empapula ezimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards