TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni atongozza olwa Entebe Express Highway n’alabula ababbi

Museveni atongozza olwa Entebe Express Highway n’alabula ababbi

By Samuel Balagadde

Added 17th June 2018

PULEZIDENTI Museveni atongozza oluguudo lwa Kampala - Entebe Express Highway n’agamba nti baagala eby’obwereere si baakuluyitako kuba lwakusasulira.

Bireke 703x422

Pulezidenti Museveni n’abakungu okuva mu China mu kutongoza oluguudo lwa Kampala Entebe Express Highway ku Lwokutaano.

Yagambye nti abo abaagala eby’obwereere baddembe okusigala nga beeyambise mu ke yayise “Akafunda” nga lwe lukadde oluliwo n’agamba nti agenda kulaba nga lukuumibwa nga luli mu mbeera nnungi.

Yalabudde abanaagezaako okubba ebintu ku luguudo luno omuli ebipande, amataala oba sehhenge nga bwe bagenda okulondoolwa ne kkamera ssaako okuteeka amasannyalaze ku butimba obwassiddwa ku mabbali g’oluguudo luno okutangira abantu okutuukako kuba waliwo abatandise nabwo okububba.

“Wadde nga luno lwe luguudo olusoose olufaanana bweruti nga lwa kusasulira, endala omuli Kampala - Jinja Expressway, Busega – Mpigi Expressway ne Kampala - Bombo Expressway zonna ziri mu nteekateeka yaakukolebwa era nga zonna zaakusasulirwa eri abo abagenda okuziyitako,” Museventi bwe yagambye.

Bino yabyogeredde ku mukolo ogw’okuggulawo oluguudo luno okuli kiromita 49 okuva e Busega okutuuka e Ntebe nga kuliko n’ekitundu ekiva e Kajjansi okutuuka e Munyonyo.

Lwakoleddwa kkampuni y’Abachina eya China Communication Construction Company (CCCC) ng’omukolo gwabadde Mpala.

“Waliwo ebintu ebiswaza era njagala kubyogera mu Luganda ng’Abachina n’Abazungu tebawulira kuba ekigambo ky’okubba ebintu ku nguudo kiswaza eggwanga.

Abo bonna ababadde basuubira okubba obupande ku luguudo luno bakimaye nti bagenda kukolwako,” Museveni bwe yagambye.

Omukolo guno gwetabiddwaako abakungu okuva mu gavumenti ya China abakulira kkampuni ya CCCC eri mu kuziba oluguudo luno n’endala mu Uganda, aba EXIM Bank abaawola gavumenti ssente z’okuzimba oluguudo luno n’abalala.

Mu balala abaabaddewo kuliko Janet Museveni, Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga, Allen Kagina akulira UNRA abakaba ba palamenti okuli n’abaakakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by’enguudo n’abakungu ba gavumenti okuva mu minisitule n’ebitongole eby’enjawulo.

Minisita w’ebyenguudo n’entambula, Monica Ntege Azuba yagambye nti wadde basobodde okutongoza oluguudo luno, waliwo ekitundu okuva e Mpala okutuuka mu kibuga ky’e Entebbe ekitundu ekitannaggwa kyakumalirizibwa mu mwezi gwa November.

Yagambye nti kyava ku buzibu obwaliwo mu kusengula abantu abaakosebwa mu kugaziya oluguudo luno ne kizibuwaliza kkampuni erukola okumaliriza mu budde.

General Katumba Wamala, minisita omubeezi ow’ebyenguudo yalabudde Bannayuganda obutabuguumirira na luguudo luno ng’okulufuula olw’okugezesa emisinde gya mmotoka kuba lukkirizibwa okuvugibwako sipiidi 120km buli ssaawa ekitabaddewo ku nguudo endala.

Yagambye nti oluguudo luno lwa byafaayo mu Uganda ne mu mawanga ag’omuliraano kuba luliko olutindo okuli kiromita emu n’ekitundu olumanyiddwa nga Nambigirwa.

Obudde obubadde bumalibwa mu kkubo okuva mu Kampala okutuuka e Ntebe busuubirwa okukendeera okuva ku ssaawa bbiri abantu ze babadde bamalamu okutuuka wakati waazo.

Wadde ng’omutemwa gwa ssente ogugenda okusasulibwa tegunnasalibwawo, oluguudo luno lugenda mu maaso n’okweyambisibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi