TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Kim owa Korea olumaze okusisinkana Trump n’akuba Putin akaama

Kim owa Korea olumaze okusisinkana Trump n’akuba Putin akaama

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2018

PULEZIDENTI wa North Korea, Kim Jong Un oluvudde e Singapore okusisinkana Trump, n’akuba Pulezidenti wa Russia, Vladmir Putin akaama.

5b1f6fe439055 703x422

Trump (ku ddyo) lwe yasisinkanye ne Kim ku Lwokubiri.

Kim awandiise ebbaluwa mu mukono gwe n’agiteeka mu bbaasa n’agiwa musajja we ow’okulusegere Kim Yong Nam okugituusa ewa Putin.

Olumaze okugisoma amuzzeemu n’akamwenyumwenyu n’amutikka obubaka okubuzza ewa Kim ng’amuyozaayoza.

“Njagala okuddamu okukuyozaayoza n’okuddamu obubaka bw’ompeerezza mbufunye bulungi. Nziramu okukusaba ojje otukyalireko e Russia omwaka guno,” Putin bwe yayanukudde ng’amaze okusoma ebbaluwa ya Kim era obubaka obwo yabutisse Yong Nam okubutuusa ewa mukama we.

Bino okubeerawo, Kim olwavudde mu nsisinkano ne Trump e Singapore ku Lwokubiri, Russia n’emuyitirawo agenyiwaleko e Russia mu September omwaka guno. Akaama Kim ke yakubye Putin akaabadde mu bbaluwa tekaayasanguziddwa. Ensisinkano ya Yong Nam ne Putin yabadde Moscow ku Lwokuna.

Yong Nam mu Uganda gw’oyinza okuyita sipiika wa palamenti. Ekifo akibaddemu okuva mu 1998 kyokka okutuuka awo yasooka kubeera minisita w’ensonga z’ebweru. Ono Kim gwe yatumye.

Putin yayongedde okumutikka obubaka obw’omumwa nti; twongera okukuyozaayoza olw’ebyo ebyavudde mu nsisinkano pulezidenti wa Korea, sseruganda Kim Jong Un mwe yabadde ne pulezidenti wa Amerika, Donald Trump.

“Kati waliwo essuubi okugonjoola obugulumbo obubaddewo mu by’obufuzi mu mirembe era ekisajjakikulu. Kim gwe yatumye yayozaayozezza Putin olw’okuddamu okulondebwa nga Pulezidenti wa Russia.

Yayongedde okumuyozaayoza okubeera nti eggwanga lye litegese ekikopo ky’omupiira ekyensi yonna nti kino kiwa eggwanga ekifaananyi ekirungi eri ensi, okutumbula ebyenfuna n’enkulaakulana ko n’okutumbula eby’obulamu bw’abantu.

Ebyo byonna nga bigenda mu maaso, abantu bangi baasigadde n’ebibuuzo ku nsisinkano ya Trump ne Kim, ky’etegeeza eri ensi n’ebiyinza okugivaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...