TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Biibino ebibuuzo ebisigadde mu ddiiro ku bya Trump ne Kim

Biibino ebibuuzo ebisigadde mu ddiiro ku bya Trump ne Kim

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2018

Biibino ebibuuzo ebisigadde mu ddiiro ku bya Trump ne Kim

Ap181632383784360 703x422

Kim ne Trump nga basisinkanye

1 Kiki Trump kye yafunye era biki bye yakkirizza okufiirwa?

Trump yasiize ekifaananyi eri ensi nti atonzeewo enkolagana ennungi eri Kim n’obwasseruganda obuyinza okumukkirizisa okukomya okuweesa eby’okulwanyisa bya nukiriya.

“Anneesiga era nsuubira nti ddala kino kituufu era kyekyo ky’ali” bino Trump yabitegeezezza omukutu gwa ABC News nga bw’anyeenya omutwe mu ngeri ey’okukakasa era n’akiddinganga nti, “Ndowooza nti anneesiga anzikiririzaamu era nange mmwesiga.

Ensisinkano ya Trump ne Kim bw’evaamu ebibala ebirungi, North Korea n’ekomya okuweesa eby’okulwanyisa bya nukiriya, kibeera kiwadde Trump enkizo era kiteekebwe kumpi mu byafaayo ebyabapulezidenti abaavaako nga Richard Nixon ne Ronald Reagan nti singa yaliwo tebandifunye bizibu ebyatuukawo.

2 Ensisinkano we yaggweeredde, Trump yasigadde ludda wa?

Trump ne Kim buli omu yafunye ky’ayagala bw’otunuulira oludda lw’okukuba Pokopoko ne beekubya n’ebifaananyi nga bali wamu.

Guno gusobola okubeera omulundi bombi lwe baasinze okulabika ku TV kubanga ensi yonna yabadde etaddeko okulaba ekigenda mu maaso. Era Trump n’afuna omukisa ensi n’eraba Kim ng’amutendereza olw’amaanyi gaataddemu okulaba ng’esisinkano eno ebeerawo.

“Tewali yali atuuse ku kino kye ntuuseeko, sisuubira nti waliwo pulezidenti wa Amerika abantu gwe baali bataddemu obwesige nga bwendi kati,” bino yabyogedde nga yeegeraageranya ku bapulezidenti ba Amerika abaamusooka.

Ababala ebyobufuzi bagamba nti kino Trump ayinza okukikoseza okusinziirako okusaba akalulu mu kulonda ababaka okugenda okubeerawo kwe bayita ‘Mid Term elections’

3 Kiki ddala kye kitegeeza okukomya okukola nyukiriya?

Ensisinkano eno yataddewo embeera nti okukuubagana okubaddewa wakati wa Amerika ne Korea kugenda kukendeera.

Amerika egamba nti kino kiri mu ggiraasi, ensisinkano ke yawedde Korea erina okwesonyiwa ebya nukiriya.

Ekyennyamiza tekinnaba kubeera kitangaavu oba ddala enjuyi zombi zitambulira ku kukkiriziganya kwekumu kubanga emitendera gikyali mingi egirina okuyitibwamu okulaba nga ddala bakomya okukola nukiriya.

“Ffenna tukyakanudde amaaso ku biriwo naye emirembe kye kikulu naddala mu mbeera ng’eno,” Trump bwe yaggumizza.

4 Kiki ekiddako ku magye ga Amerika agali e South Korea?

Trump yalagidde okutendekebwa kw’amagye gano okubadde kugenda mu maaso kuyimirizibwe mbagirawo, kubanga bwe bagenda mu maaso babeera ng’abasomooza North Korea ate gye babadde nayo mu nteeseganya.

Abamerika naddala Congress kino tekyabasanyudde kubanga emirundi mingi Trump abadde awakanya okuteeka amagye ga Amerika ebweru w’eggwanga.

Amerika okusindika amagye gaayo kibeera kitegeeza kulwana naye kati bw’agayimiriza okukola ekyagatwala mu South Korea abeera ng’agalagidde gatuule ku mmeeza gateese!

Era kiwa China amaanyi kubanga eruubirira kusukkuluma ku Amerika mu kitundu kya Pacifi c awabadde amagye gaayo okumala ebbanga.

5 Kiki ekiddako?

Ebigenda okukolebwa mu myezi egiddako bye bigenda okulaga oba ddala ensisinkano eno kituufu esobola okumalawo obunkenke wakati wa North Korea ne Amerika oba yayambye Korea kunafuya nteekateeka za Amerika mu kuteesa n’amawanga amalala.

Trump ng’ali e Singapore yakakasizza nti okusinziira ku bye yayogedde ne Kim alabika akakasa nga mwetegefu okuva ku by’okukola nukiriya. Kino kinaatuukirira!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...