TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yunifoomu ey’emirembe yeenaanikibwa etya abatabangula emirembe?

Yunifoomu ey’emirembe yeenaanikibwa etya abatabangula emirembe?

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2018

OMUKUUMI bw’atandika okunyaga bye baamuwadde okukuuma, ng’omanya ensi etandise okulaluka. Kulaluka ki kw’oba olinda, nga yaaya gwe balekedde amata agawe bbebi, ate y’agafutubbaddeko n’aganywa okugamalamu gonna.

Kalekayihura 703x422

Kale Kayihura

Bbebi akanda kumukaabirira nga bw’alaajana nti, “otuta twange…otuta twange….” nga yaaya ayongera kugeekatankira awatali wadde okumagamaga.

Okukwata abakuumaddembe nga bateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka, kabonero akamala okukulaga ensi bw’etandika okulaluka.

Okuteebereza obuteebereza nti omukuumaddembe yeenyigidde mu kutabangula emirembe, kimala bumazi okukwesisizawa.

Yunifoomu eyeeyolekeramu emirembe n’obutebenkevu bw’etandika okwenaanikibwa abeenyigira mu kutabangula obutebenkevu, ng’omanya ensi etabanguse etandise kulaluka.

Eddalu eryo lyeyongera okukula ng’abateeberezebwa mulimu n’abali ku madaala aga waggulu be balumiriza nti be baatuumanga ab’amadaala aga wansi be batwala okwenyigira mu bikolobero.

Babe ng’ebikolobero baabikolanga Congo: wa! Baabikola mu Uganda ku bantu be baakwasibwa babakuume n’ebintu byabwe.

Eddalu lisukka ogw’omulamuzi ng’emisango gye bateeberezebwa okukuuma ate beenyigira ne mu kugitta! Gubangako omusango omulala, naye obutemu!

Abantu bakanda kulaajana nti emisango givulugibwa nga tebamanyi nti ate be bagiroopera, bennyinni be baagizza.

Obujulizi bwonna obuba bwasigalira musajja wattu obukwata n’obutwalira poliisi, so nga gw’obutwalira ye yabuleka era kyasooka okukola kwe kubusaanyaawo. Naye nga lwaki abantu ensi be yateekamu obwesige okukuuma emirembe, okukuuma abantu n’ebyabwe batuuka ku kino!

Bagundi mutuyambe mudde mu kkubo eggolokofu, mutaase ensi yaffe ku ddalu lino erigyolekedde.

Mu ddalu lino, abantu beesigaliza amawulire agakwata ku bamenyi b’amateeka kubanga babeera tebeekakasa oba gwe bawa amawulire, ekiro taggyamu yunifoomu ya poliisi n’ayambala akakookoolo n’anyaga n’okutemula b’alina okuwa obukuumi.

Bwe munadda mu kuyaayaanira obugagga obw’amangu n’obuyinza obutaliiko kkomo ne mwerabira abawi b’omusolo bye babasuubiramu, nga mukutte ensi yaffe ne mugigemulira eddalu liri lyennyini erikuba n’amayinja muwedde.

Ate eddalu bwe linaatuuka awo nammwe temweyibaala, mujja kumaliriza amayinja gabatwaliddemu ate gajja kubakuba ku ssekalootera yennyini!

Abandibadde abakuumi bammwe, bajja kukyuka mu ssaawa busaawa bafuuke bakama bammwe nga be basalawo lw’onaafuluma akaduukulu olabe ku kasana ne lw’onaafunayo ku katundutundu k’akawunga n’ebijanjaalo ebya kawuukuumi. Sibalimba!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...