TOP
  • Home
  • Agawano
  • Eyeeyita Paasita bamukutte ne munne nga bawamba omwana e Kanyanya

Eyeeyita Paasita bamukutte ne munne nga bawamba omwana e Kanyanya

By Sarah Zawedde

Added 17th June 2018

ABASAJJA babiri okuli n’eyeeyise omubuulizi w’enjiri bakwatiddwa lubona nga bagezaako okuwamba omwana okuva ku dduuka lya bazadde be.

Kuwamba1 703x422

Mwesigwa ne Nsubuga. Ku ddyo ye Kalema n’omwana we Walugembe eyasimattuse.

David Nsubuga eyeeyita omusumba ng’abuulira njiri e Wandegeya ow’e Nsooba ne Moses Mwesigwa asiika ebyokulya ku luguudo lwa Mambule ng’abeera Wampamba mu Kanyanya baakwatiddwa lubona nga bawamba Taliki Walugembe 4, asoma nassale ku ssomero lya Bubbles e Kanyanya.

Isma Kalema nga ye taata w’omwana agamba nti yasanze Nsubuga akutte mutabani we omukono amuwalabanya kyokka ng’omwana agezaako okuwalira.

Kalema yagambye nti Walugembe yasoose kubeera mu dduuka ne maama we mu Kitala zooni e Kanyanya n’afuluma ng’azannya yekka.

“Nange nabadde ku dduuka eddala we nkolera kwe kutambula ne nneetoloola emabbali gye nagwiridde ku Nsubuga ng’alina ekisawo ng’awalabanya omwana wange.

Nakubye enduulu eyasombodde abantu abaazingizza abasajja bano abaabadde badduka.” Atwala poliisi ya Kanyanya, Arison Arinda yagambye nti bagguddwaako omusango ku fayiro SD: 34/14/06/18.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana