TOP
  • Home
  • Agookya
  • Eky'okutta Kaweesi biranze; Amagye gazudde emmundu enkambwe 3 ze bakozesa okumutta

Eky'okutta Kaweesi biranze; Amagye gazudde emmundu enkambwe 3 ze bakozesa okumutta

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2018

Eky'okutta Kaweesi biranze; Amagye gazudde emmundu enkambwe 3 ze bakozesa okumutta

Ka1 703x422

Falix Kaweesi

EMMUNDU abatemu ze bakozesa okutta Andrew Felix Kaweesi mu March 2017 kyaddaki amagye gazizudde. Emmundu zonna ssatu ziri mu mikono gya Babyakwerinda.

Kuliko ey’ekika kya “Uzi Gun’ enkola ya Yisirayiri n’endala bbiri ez’ekika kya M4 enkola y’Abamerika era zikozesebwa nnyo amagye ga Amerika kubanga zoogerwako nti nnungi mu kuteeba oba okukuba tageti.

Ensonda mu bitongole ebyokwerinda zaategeezezza nti emmundu zaazuliddwa nga zikwekeddwa mu kinnya nga kigambibwa nti zaatwalibwayo mu kaweefube w’okukweka obujulizi.

Kaweesi yatemulwa March 17, 2017 e Kulambiro. Okuzuula emmundu kiddiridde aba ISO okukwata omuserikale wa Flying Squad, Abel Kitagenda eyabawadde amawulire agaabayambye okukwata abantu abalala abagambibwa okwenyigira mu kutemula Kaweesi. Era bano be baatuusizza amagye ku mmundu zino. Kyokka omwogezi wa Poliisi, Emilian Kayima bwe yatuukiriddwa yagambye nti talina ky’akimanyiiko.

EBIKWATA KU MMUNDU EZATTA KAWEESI

Ebisosokole by’amasasi ebyazuulibwa mu kifo Kaweesi we yatemulirwa by'alaga nti emmundu ezaakozesebwa kwaliko M4 ne Uzi gun ekyatabula ennyo ab’ebyokwerinda nga beebuuza engeri abatemu gye baafunyeemu emmundu naddala M4 ey’omutawaana ennyo kubanga mu Uganda ekwatibwa ggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Group (SFG) lyokka.

Emmundu zino zaakazesebwa amagye ga Kenya aga Special Forces mu kufuuza abatujju abaalumba ekizimbe ekya Westgate mu 2013 ne batta abantu abasoba mu 70.

Mu kitundu kino, Uganda ne Kenya ge mawanga gokka agazirina. Emmundu eno, nkola ya Mumerika.

Yatandika okuweesebwa mu 1983 n’eggyibwako engalo mu 1993 n’entandika okukozesebwa mu 1994 era Abamerika bazze bagyongeramu ebirungo.

Okusinziira ku mukutu ogwa Wikipedia, emmundu ya M4 ekozesebwaebibinja bya bakomando okuli; Marine Force Recon, Army Rangers, Army Special Forces, Navy SEALs, United States Air Force Pararescue n’ekibinja ekya Air Force Combat Control Teams.

Ebibinja ebyo, emmundu eno, gye bikozesa buli lwe bibeera bigenda ku misoni enkambwe.

Abeekibinja kya Navy SEALs Team 6 , emmundu eno gye baakozesa ku misoni gye baakola mu Pakistan nga May 2, 2011 okutta Osama bin Laden. Era zikozesebwa ebitongole byokwerinda mu Yisirayiri, Bungereza, Girimaani, Butuliiki, Saudi Arabia, UAE ne Jordan.

Yettanirwa kubanga mpewufu, n’obumpi bwayo, ate nga mutasubwa okusinga emmundu endala zonna ez’omu mikono. Emmundu eno egula ssente ezitakka wansi wa ddoola 700 ( mu za Uganda nga obukadde bubiri n’ekitundu) M4 esobola bulungi nnyo okukuba ssabaawa mu buwanvu bwa kitundu kya Kiromita

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...