TOP
  • Home
  • Agookya
  • Ebikwata ku mmundu enkambwe ze baakozesa okutta Kaweesi

Ebikwata ku mmundu enkambwe ze baakozesa okutta Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2018

Ebikwata ku mmundu enkambwe ze baakozesa okutta Kaweesi

Uzico2carbine2278417blacklsanglecollapsed10241024 703x422

Emmundu ekika kya UZI emu zaazuuliddwa amagye. Zino abata Kaweesi ze baakozesa

Ebisosokole by’amasasi ebyazuulibwa mu kifo Kaweesi we yatemulirwa by'alaga nti emmundu ezaakozesebwa kwaliko M4 ne Uzi gun ekyatabula ennyo ab’ebyokwerinda nga beebuuza engeri abatemu gye baafunyeemu emmundu naddala M4 ey’omutawaana ennyo kubanga mu Uganda ekwatibwa ggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Group (SFG) lyokka.

Emmundu zino zaakozesebwa amagye ga Kenya aga Special Forces mu kufuuza abatujju abaalumba ekizimbe ekya Westgate mu 2013 ne batta abantu abasoba mu 70.

Mu kitundu kino, Uganda ne Kenya ge mawanga gokka agazirina. Emmundu eno, nkola ya Mumerika.

Yatandika okuweesebwa mu 1983 n’eggyibwako engalo mu 1993 n’entandika okukozesebwa mu 1994 era Abamerika bazze bagyongeramu ebirungo.

 mmundu ekika kya 4 Emmundu ekika kya M4

Okusinziira ku mukutu ogwa Wikipedia, emmundu ya M4 ekozesebwaebibinja bya bakomando okuli; Marine Force Recon, Army Rangers, Army Special Forces, Navy SEALs, United States Air Force Pararescue n’ekibinja ekya Air Force Combat Control Teams. Ebibinja ebyo, emmundu eno, gye bikozesa buli lwe bibeera bigenda ku misoni enkambwe.

Abeekibinja kya Navy SEALs Team 6 , emmundu eno gye baakozesa ku misoni gye baakola mu Pakistan nga May 2, 2011 okutta Osama bin Laden. Era zikozesebwa ebitongole byokwerinda mu Yisirayiri, Bungereza, Girimaani, Butuliiki, Saudi Arabia, UAE ne Jordan.

Yettanirwa kubanga mpewufu, n’obumpi bwayo, ate nga mutasubwa okusinga emmundu endala zonna ez’omu mikono. Emmundu eno egula ssente ezitakka wansi wa ddoola 700 ( mu za Uganda nga obukadde bubiri n’ekitundu) M4 esobola bulungi nnyo okukuba ssabaawa mu buwanvu bwa kitundu kya Kiromita

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapya 220x290

Mmengo n'Abasiraamu bakukkulumye...

MMENGO eyogedde ku nkyukakyuka Pulezidenti Museveni ze yakoze mu baminisita n’egamba nti Bannayuganda bajja kusanyuka...

Yiwayiwa1 220x290

Eyawambye abaana 3 asabye ssente...

EYAWAMBYE abaana basatu e Kiboga n’asaba ssente, abazadde bazimuwadde kyokka n’abasala obulago emirambo n’agisuula...

Rugbyweb 220x290

Aba rugby ekisaawe tekibalemesa...

Hima Cement Heathens ewangudde Makerere Impis ne yeeywereza ku ntikko

Arteta 220x290

Tetujja kulemesa Arteta kwegatta...

Arsenal eri ku muyiggo gwa mutendesi muggya anaasikira Unai Emery eyagobwa ku nkomerero ya November.

Cecafadec152019cranesbtdjibouti41okello19571 220x290

Uganda Cranes erinze Tanzania ku...

Uganda eyagala kuwangula kikopo kya CECAFA eky'omulundi ogw'e 15.