TOP
  • Home
  • Agawano
  • Museveni asisinkanye abajaasi n'awera okumalawo ettemu

Museveni asisinkanye abajaasi n'awera okumalawo ettemu

By Muwanga Kakooza

Added 18th June 2018

“Obutalaga bukambwe kakyali kakodyo. Okutiisatiisa okumenya amateeka okukolebwa abatemu kujja kulinnyibwa ku nfeete ebuleyo n’abakaabira (abatemu) kuba bamaze okweraga ki kye bali, “Museveni bwe yaweze.

Luka 703x422

Pulezidenti Museveni ng’ali ne boofisa ba UPDF be yasisinkanye e Ntebe.

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abajaasi n’ategeeza nti obutalaga bukambwe bwa lwatu eri batemu kakyali kakodyo.

N’alabula nti abali emabega w’ettemu n’okutiisatiisa ebigenda mu maaso bajja kukolwako.

Museveni yayongeddeko nti bannabyafuzi abagezaako okulemesa Gavumenti nga beefudde abagezi bajja kwongera okukola ensobi ezisinga obunene bawangulwe NRM.

“Obutalaga bukambwe kakyali kakodyo. Okutiisatiisa okumenya amateeka okukolebwa abatemu kujja kulinnyibwa ku nfeete ebuleyo n’abakaabira (abatemu) kuba bamaze okweraga ki kye bali, “Museveni bwe yaweze.

Yabadde mu maka ge e Ntebe ng’asisinkanye abaajaasi ababadde babangulwa mu byobufuzi okumaze emyezi esatu ku ttendekero lya ‘Oliver Reginald Tambo School of leadership’ Kaweweeta e Nakaseke.

Kwetabiddwaamu bakapiteeni 41, ba lieutenants 28, ba 2nd lieutenants 26. Kwabaddeko abakazi kkumi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Kab1 220x290

Aboolugave baakununula obutaka...

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe