TOP

Amagye googedde ku by'okuwozesa Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 19th June 2018

Amagye googedde ku by'okuwozesa Kayihura

Gye1 703x422

Omwogezi wa UPDF Brig. Karemeire ate ku kkone Kayihura

AMAGYE gategeezezza nti enteekateeka ez’okuwozesa Gen. Kale Kayihura zaakulinda okutuusa nga Pulezidenti alonze Bannamagye aba kkooti ey’amagye eyitibwa General Court Martial.

Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yategeezezza Bukedde eggulo nti enteekateeka ez’okutwala Gen. Kayihura mu kkooti y’amagye zikyali kubanga tekinnasalibwawo misango egigenda okumuvunaanibwa ne we banaamuwozesereza.

Brig. Karemire yannyonnyodde nti mu nkola y’amagye, Genero omujjuvu alina kuwozesebwa Genero omujjuvu, ekitegeeza nti Pulezidenti Museveni gw’anaalonda okubeera ssentebe wa General Court Martial (GCM), alina kubeera ku ddaala lya Genero. Kyokka mu February 2016 Gen. David Sejusa bwe yasimbibwa mu kkooti y’amagye, yawozesebwa omugenzi Maj. Gen Levi Karuhanga eyali akulira GCM ebiseera ebyo ng’ali wansi wa Sejusa amadaala ababiri.

Brig. Karemire yagambye nti ye ky’amanyi, Genero alina kuwozesa muntu ali ku ddaala lye limu naye owa waggulu kyokka yagaanyi okunnyonnyola kw’ani anaalondebwa okuwozesa Gen. Kayihura singa anaasimbibwa mu kkooti y’amagye. Maj.Gen. Karuhanga bwe yafa mu April 2016, Pulezidenti Museveni yalonda Lt Gen Andrew Gutti okumuddira mu bigere nga ssentebe wa GCM n’akola omwaka guno okutuuka mu June 2017, ekisanja kye lwe kyaggwaako n’addamu okumwogera ekisanja ekirala mu July 2017.

Ekisanja kya Gutti kyaweddeko omwezi guno era Pulezidenti alindiriddwa okulonda kkooti empya okuwozesa emisango egiri mu kkooti y’amagye okuli; egivunaanibwa Abdallah Kitatta, bofiisi ba Poliisi Nixon Agasirwe n’abalala gattako ne Gen. Kayihura

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...