Mbabazi yali muganzi wa Kaweesi kyokka okunoonyereza kwa ISO kulaga nti yali mu lukwe lw’okutta Kaweesi bwe yeekobaana n’abatemu.
Okuva mu September 2017, akuumibwa baserikale, mu nnyumba e Lungujja. Ku ntandikwa ya wiiki eno yafunye kamunguluze n’agwa n’ayisibwa bubi.
Baakubidde essimu akulira ekitongole kya ISO Col. Frank Kaka Bagyenda essimu n’amuweereza omusawo eyamukebedde n’amujjanjaba. Kyokka ng’embeera eyongera kwonooneka, omusawo n’asemba bamwongereyo mu ddwaaliro eddene.
Ensonda zaategeezezza nti yakebeddwa ne kizuulwa nga puleesa emuli bubi ate n’amabwa g’omu lubuto aga alusa gaabadde gamuluma olw’obutalya n’okweraliikirira.
Bukedde yagenze okumulaba n’asanga ng’eddwaaliro lyebulunguluddwa abaserikale.
Kaweesi yatemulwa March 17, 2017 nga yaakasimbula okuva ewuwe e Kulambiro mu Munisipaali y’e Nakawa.
Aba ISO baakwata omusajja eyakazibwako Rasta agambibwa nti olukwe lw’okutta Kaweesi lwakolebwa munda mu poliisi.
Waliwo enkiiko ezaatuula ku wooteeri Kati Kati e Lugogo nga zeetabwamu Mbabazi n’abaserikale.
Kigambibwa nti Mbabazi yakolagana n’abatemu era bwe baali ku Kati Kati baasoma pulogulaamu ya Kaweesi ya wiiki yonna ne balondako ennaku bbiri ezaali ennyangu okumuttirako.
Baayagala okumutta ku Lwokuna nga March 16. Yalina abantu b’agenda okusisnkana e Ntebe oluvannyuma asisinkane Mbabazi mu kifo ekimu e Ntebe.
Mbabazi yalina okuwuliziganya n’abatemu ku ssimu balumbe Kaweesi e Ntebe oba okumuteega mu kkubo ng’akomawo e Kampala.
Kyokka Kaweesi yakubira Mbabazi essimu ng’amutegeeza bw’afunye pulogulaamu endala ne bakkaanya basisinkane e Mukono enkeera ku Lwokutaano nga March 17, nga Kaweesi amaze okwogera eri abayizi ku Yunivasite.
Kigambibwa nti Mbabazi yaddamu okusisinkana abatemu ku Lwokuna ekiro ne bakkaanya Kaweesi bamutte ng’ava ewuwe okugenda e Mukono.
Kigambibwa nti olw’okuba ekitundu ky’e Kulambiro kyetooloddwa poliisi (Police Posts) kyali kisoboka abaserikale okujja okutaasa Kaweesi oba okukwata n’okutta abatemu.
Kigambibwa nti kyasalibwawo abaserikale bonna okugenda ku poliisi ya Kira Road ku Lwokutaano ku makya era Kaweesi we baamuttira mu kitundu temwalimu baserikale.
Kyokka Mbabazi bino byonna abyegaana nti tabeerangako mu lukiiko era ne Rasta tamumanyi. Asaba bw’aba alina omusango atwalibwe mu kkooti avunaanibwe.
Kigambibwa nti Rasta alumiriza olukiiko alwateesa okutemula Kaweesi lwalimu n’omuserikale Abbey Kitagenda eyali amanyiganye obulungi ne Kaweesi era yeenyigira mu butemu.
Kitagenda yakwatibwa aba ISO wiiki ewedde.