TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Embeera ya Nambooze etiisizza omwami we Bakireke

Embeera ya Nambooze etiisizza omwami we Bakireke

By Musasi wa Bukedde

Added 19th June 2018

Embeera ya Nambooze etiisizza omwami we Bakireke

Nam1 703x422

Betty Nambooze ku kitanda e Kiruddu

BBA w’omubaka Betty Nambooze, Henry Bakireke agambye nti embeera ya mukyala we buli lunaku yeeyongera okwonooneka. Nambooze wakati mu maziga yategeezezza nti ekifuba, olubuto n’omugongo tebimuganya wadde okutuula olw’obulumi naye ne bw’annyonnyola abasawo ne poliisi tebakitegeera kati balooya be bokka be basobola okumuyamba. Eggulo Nambooze yazzeemu n’atwalibwa mu kyuma ekikuba ebifaananyi kyokka abasawo baagambye nti bye bazudde bikyali bya kyama.

Nambooze yaweebwa ekitanda mu kasenge nnamba 7B5 ku mwaliiro ogw’omusanvu mu ddwaaliro ly’e Kiruddu.

ABASAWO KYE BAGAMBA Akulira eddwaaliro ekkulu e Mulago, Dr. Byarugaba Baterana yategeezezza nti balina obusobozi bwonna obulabirira omubaka Nambooze. Yagambye nti baamutaddeko abasawo abakugu mukaaga okuli Dr. Charles Kabugo (akulira Kiruddu), Dr. Emmanuel Sseremba, Dr. Fred Nakwagala, Dr. Robert Mukisa ne Dr. Waiswa. ‘‘Nange nkolera wamu nabo era bwe tunaalaba nti embeera yeetaagisa okumutwala tugenda kumukkiriza naye ekiseera kino tukyamusobola,” Byarugaba bwe yagambye.

Yategeezezza nti bamukebera buli kiseera kyokka tebasobola kumala googera bikwata ku mbeera ya mulwadde waabwe okuggyako ye nga yaasazeewo okubuulira bannamawulire. BANNAMATEEKA BAWERA Banamateeka ba Nambooze balabudde nti tebasobola kukkiriza muntu waabwe kutulugunyizibwa kyenkanidde awo nga batudde. ”Tutwala musango wa Meddie Kaggwa akulira akakiiko akakola ku ddembe ly’obuntu tumusabe ajje alabe embeera y’omubaka.

Ababaka bagenda wa Sipiika Rebecca Kadaga kumutegeeza ku mbeera eno nga bwe tutwala n’omusango mu kkooti” Erias Lukwago puliida wa Nambooze bwe yagambye. Yalaze lipooti ya palamenti ekwata ku bulwadde bwa Nambooze n’ategeeza nti sipiika yali yamukkiriza dda addeyo e Buyindi akeberebwe era abadde mu nteekateeka zirinnya nnyonyi. Yagambye nti Nambooze mulwadde nnyo era bw’omulaba akwasa ennaku kyokka abaserikale kino tebakimanyi.

Bakireke yategeezezza nti embeera ya mukyala we yayongedde okusajjuka ambyulensi mwe baabadde bamutambuliza bwe yatomeddwa kabangali ya poliisi n’emulumya nnyo.

EKIRI E KIRUDDU Eddwaaliro ly’e Kiruddu omujjanjabirwa Nambooze lyebulunguddwa bambega ba poliisi abali mu ngoye za bulijjo ne yunifoomu okutandikira ku geeti okulinnya ku buli mwaliiro. Tebakkiriza bagenyi kuyingira mu kasenge ka Nambooze nga n’obutebe kw’otuukira butuddeko baserikale, n’oluggi baalutaddeko akapande nti tewali akkirizibwa kuyingira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...