TOP

Eyavuga abatta Kaweesi bamwogezza ebyama

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2018

Eyavuga abatta Kaweesi bamwogezza ebyama

Hib1 703x422

Kimbowa ng’akola ‘omubiri’.

OMUSERIKALE wa Flying Squad eyakwatiddwa ku by’okuvuga emu ku pikipiki eyatambuza abatta Kaweesi, kizuuliddwa nga yafuna obutendeke obw’enjawulo mu bukodyo obw’ekikomando.

Bambega ba ISO abanoonyereza ku baatemula AIGP Andrew Felix Kaweesi bazudde nti Martin Kimbowa yatendekebwa bakamondo ba North Korea era mu bye yatendekebwa mulimu okuvuga ebidduka mu ‘misoni’ ez’omutawaana era essira yalissa ku mmotoka ne pikipiki.

ABADDE MU KIBINJA KYA TAYIKONDO Kimbowa y’omu ku baserikale ba Poliisi abatono ddala abaali mu kibinja eky’omutawaana ekiyitibwa “Taekwondo Crew”, abaalondebwa mu ngeri ey’obwegendereza ne batendekebwa bakomando ba North Korea mu 2015 e Kabalye mu ttendekero lya poliisi. Bino bye bimu ku bizuuliddwa mu kunoonyereza ku Kimbowa, eyakwatiddwa aba ISO ku by’okutta Kaweesi, omukuumi we Keneth Erau ne dereeva Godfrey Mambewa e Kulambiro nga March 17, 2017 ku ssaawa nga 3:30 ez’oku makya.

Yasooka kutendekebwa mu bikonde era y’omu ku bantu abaatendekebwa Zebra Ssennyange. Ayogerwako ng’omusajja omumalirivu ennyo, era ng’obumalirivu buno kigambibwa nti yabuggya mu mbeera ey’obugubi mwe yakulira. Kitaawe yafa n’amuleka nga wa myaka esatu gyokka, olwo n’akulira mu mikono gy’omuzirakisa eyamuggya e Kyotera mu kyalo n’amuleeta e Bwaise mu Kampala.

Yasooka kubeera mu mugotteko gw’omu Kimombasa gye yamala ebbanga eddene. Omugenzi Muhammad Mugalu eyali omutabuzi w’eddagala ly’ekinnansi mu Kimombaasa ye yakuza Kimbowa.

Omu ku batuuze e Bwaise ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti Kimbowa yali muvubuka eyakula nga mukkakkamu wabula nga mumalirivu ate oweekiwago, yali ayagala nnyo okuba omuzannyi w’ebikonde era nga yeegomba nnyo okuba omuserikale wa poliisi. Bwe yavubuka yakolerako ku kibanda kya firimu era ng’abeesisiggiriza okusasula, abayoola buyoozi n’abakanyuga ebweru. Awo we yava okugenda mu kifo Ssenyange mw’atendekera abeebikonde era n’atendekebwa.

ABAAMUKUTTE BAMWOGEZZA Ensonda mu ISO zaategeezezza nti Kimbowa baasoose kumubuuza engeri gye yayingira mu poliisi era n’attottola nti bwe yali akyali mu bikonde yatandiikiriza mpola okubeera okumpi n’abaserikale ba poliisi era oluvannyuma yafuuka “mbega” wa poliisi mu kitundu ky’e Bwaise era nga by’abeera afunye mu bantu abitwala ku poliisi ya CPS mu Kampala ne ku poliisi y’e Kasangati mu 2010.

Mu biseera by’okwekalakaasa kwa “Walt to work” mukwano gwe Yassin eyakazibwako “Komando Yaasi” yamutegeeza nti poliisi yali ebeetaaga okugiyambako mu kukkakkanya obujagalalo era baatandika okukola omulimu ogwo nga bakozesa emiggo. Kino ky’ekibinja ekyakazibwako “Kibooko Squad.” Olw’okukola emirimu n’obumalirivu, Kimbowa nti yassibwa ku ttiimu eyali ekwata Dr. Kizza Besigye mu kwekalakaasa kwa 2011 era y’omu ku baabeeranga mu kamotoka mwe baatwaliranga Besigye nga bamukutte era omulimu gwe omukulu gwabeeranga gwa kukkakkanya ‘musibe’ bw’aba agezaako okukola effujjo.

Baamubuuzizza ku bye yatendekebwamu kwe kunnyonnyola nti boofiisa ba poliisi bwe baamatira emirimu gye yali akola ne basalawo okumuyingiza mu Flying Squad era ne basalawo agende atendekebwe e Kabale, Masindi.

Yatendekebwa mu “Tayikondo” n’obukodyo bw’ekikomando obulala era n’afuuka SPC (Special Police Constable) omujjuvu. Baakuguka mu kulwana okwa buli kika, okuyita mu muliro nga gubumbujja, okuvuga emmotoka ne pikipiki ne bazibuusa emyala n’okuzivugira ku mupiira ogumu n’obukodyo obulala.

Aba ISO baamukunyizza nga beesigama ku bujulizi bwe baafuna obulaga nti ye yavuga emu ku pikipiki eyatambuza abaakuba Kaweesi amasasi. Pikipiki eyookubiri yaliko omusajja eyategeeza nti ye Rasta era y’omu ku balumiriza Kimbowa nti ye yali avuga pikipiki eyookubiri. Baamukozesezza sitetimenti ku byaliwo nga March 17, 2018 lwe batta Kaweesi era mu siteetimenti ye alina b’ajuliza.

Kimbowa yali akolera wansi wa Nixon Agasirwe eyali akulira ebikwekweto eby’enjawulo era wadde nga kati yakwatibwa amagye ku by’okuzzaayo abanoonyi b’obubudamu e Rwanda mu ngeri emenya amateeka, wabula n’abaakakwatibwa ku bya Kaweesi bakoona ku linnya lye. Aba ISO bagamba nti bye boogezza Kimbowa bya mugaso nnyo naddala mu bujulizi obulaga engeri abatemu gye badduka okuva mu kifo we battira Kaweesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...