TOP
  • Home
  • Agawano
  • UPDF enywezezza eby’okwerinda ku nnyanja Nalubaale

UPDF enywezezza eby’okwerinda ku nnyanja Nalubaale

By Stuart Yiga

Added 20th June 2018

Pulezidenti Yoweri Museveni agulidde ekibinja ky’eggye lya UPDF eky’ekkumi amaato ga ‘Rhino’ gabayambeko mu kulwawuna ku nnyanja ya Victoria nga basinziira mu bitundu by’e Ntebe.

Funa1 703x422

Pulezidenti Museveni ng'atongoza erimu mu maato g'oku mazzi amalwanyi agagenda okweyambisibwa IPDF okukuuma obutebenkevu ku mazzi

Pulezidenti Yoweri Museveni agulidde ekibinja ky’eggye lya UPDF eky’ekkumi amaato ga ‘Rhino’ gabayambeko mu kulwawuna ku nnyanja ya Victoria nga basinziira mu bitundu by’e Ntebe.

Museveni agamba nti ng’akyali muyeekera mu mwaka gwa 1981, yalinnya  eryato ery’ekika kya 25 HPW, okuva mu Uganda n’atuuka  e Kisumu, nga tewali ategedde nekyongera okumuggula amaaso nti abalabe oba abatujju bayinza okukola ekintu ky’ekimu ne batuusa obulabe ku ggwanga lyaffe.

Kiba kyangu okweyambisa  kyamagezi nnyo okunyweza eby’okwerinda ku nnyanja kuba abalabe bayinza okuyisa eggwanga ku litalaba ne baleeta obuzibu mu by’okwerinda.

Museveni ategeezezza nti abavubi kati bagenda kuweebwa ennamba puleeti ezakoleddwa mu tekinologgiya ow’omulembe era nga zijja kuba zirondoolwa buli ssaawa nga we wabaawo obuzibu bwonna, amaato ga UPDF gaba basobola okusindikibwa ne gazza embeera mu nteeko.

gamu ku maato  gegenda okukozesa okulawuna ku mazziAgamu ku maato UPDF g'egenda okukozesa okulawuna ku mazzi

Yagambye nti eby’okwerinda bigenda kwongera okunywezebwa ku buli nnyanja, mu ngeri y’okwongera okulwanyisa envuba embi, n’okutangira abatujju obutayingira mu ggwanga.

Akulira eggye lya UPDF erirwanira ku mazzi, Brig Micheal Nyarwa, agamba nti abatujju abayita ku mazzi bakyussaza obukodyo buli lukya n’ategeeza nti bakyalina okwongera okukuguka mu bukodyo okuli okuyiga okuvuga amaato ga lubbira okusobola okwang’anga embeera yonna ebeera ezzeewo.

Ku mukolo gw’egumu pulezidenti Museveni atongozza  ba kadeeti ofiisa bataano, okuli; O/CDTs Baker Mukundane, James Onzima Seyakwo, Tibakula Kabubi Eryeza, Betty Mirembe, bano nga babadde batendekebwa mu ttendekero ly’amagye ga Tanzania Military Academy e Monduli.

Ye O/CDT Julius Ntegeka,  eyamalirizza okutendekebwa e Bungereza mu ‘The Royal Military Academy Sandhurst’ naye teyalutumiddwa mwana.

Omukolo guno gwetabidwako omuduumizi w’emaggye lya UPDF Gen David Muhoozi, Aduumira eggye lya UPDF eryokuttaka, Maj Gen Peter Elwelu, Amyuka omuduumizi w’eggye lyomu bbanga, Maj Gen Gavas Mugyenyi, Joint Chief of Staff Maj Gen Joseph Musanyufu n’akulira eggye erikuuma Pulezidenti (SFC), Brig Don Nabasa  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.