TOP

Eby'omubaka Nambooze tebinnaggwa!

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2018

Eby'omubaka Nambooze tebinnaggwa!

Deb2 703x422

Betty Nambooze

POLIISI etutte okusaba mu kkooti e Nakawa ng’eyagala kuweebwa lukusa ekebere amasimu ga Nambooze mu kwongera okukuhhaanya obujulizi ku musango gw’okukozesa obubi emikutu gy’ebyempuliziganya egimuvunaanibwa bwe yali ayogera ku kuttibwa kw’omubaka Ibrahim Abiriga.

Mu kiwandiiko poliisi ky’etutte mu kkooti nga kiriko omukono gw’omuserikale AIP Imam Were okuva mu kitebe ekinoonyereza ku misango e Kibuli, basabye kkooti ebakkirize bagende baaze amasimu ne kompyuta za Nambooze.

Okusaba kuno kutwaliddwa ew’omulamuzi Jameson Karemani akulira kkooti y’e Nakawa nga bagamba nti ssinga babakkiriza bajja kusobola okukuhhaanya obulungi obujulizi ku misango gy’okukozesa obubi emikutu gy’empuliziganya gye baamuggulako.

Okusaba kuno tekunawulirizibwa nga kukyali mu kkooti y’omulamuzi Karemani. Wabula okuva mu nsonda ezesigika mu kkooti eno, fayiro y’omusango gwa Nambooze, omuwaabi wa Gavumenti yagiyita wiiki ewedde kyokka tebaasobola kumuleeta mu kkooti kubanga akyali mulwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat2 220x290

King James emezze abanunuzi

King James emezze abanunuzi

Namu 220x290

Tuzudde enfo ya Mugisha eyatta...

Bosco Mugisha eyakwatibwa ku katambi ne Young Mulo nga batuga owa bodaboda, abadde n’enfo mu Ndeeba w’abadde asinziira...

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...