TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubuulizi w’enjiri alemereddwa okuzimba ekkanisa ne yeetuga

Omubuulizi w’enjiri alemereddwa okuzimba ekkanisa ne yeetuga

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2018

Omubuulizi w’enjiri alemereddwa okuzimba ekkanisa ne yeetuga

ABATUUZE ku kyalo Kabone ekisangibwa e Ssanga-Matugga mu Disitulikiti ye Wakiso baguddemu ekyekango omusajja abadde abuulira enjiri bwe yetuze lwa mabanja agabadde gamuyitiriddeko.

Eria Segawa Ddundiro 27 abadde amanyiddwa nga Kazungu nga musuubuzi ate ng’abuulira n’enjiri mu bitundu by’e Matugga ye yeetuze oluvannyuma lw’okutunda ebintu bye ng’ayagala okukola ekkanisa kyokka ne bigaana. Segawa enjiri abadde atera kugibuulira ku luguudo lw’e Matugga naddala ku kigenda e Ssemuto saako n’okutambula nnyumba ku nnyumba ng’amanyisa abantu ekigambo kya Katonda.

Abamumanyi bagamba nti mu kutandika okubuulira enjiri yalina essuubi ery’okugaggawala mu myaka esatu era n’atunda ebintu bye eby’omu nnyumba okuli ttivi, entebe, ekitanda n’emmere gye yalimanga, wabula byonna ne bigaana. Omulambo gwa Segawa gwalabiddwa nnyina, Alice Kanyango abadde amaze ennaku bbiri nga tamulaba, ekitali kya bulijjo.

Yagenze mu maka ge okumunoonya n’asanga ng’oluggi luggale kwe kuyita emmanju n’amenya oluggi. Yagudde ku mulambo gwa mutabani we nga gulengejjera ku mulabba. Kanyango yatemye omulanga ogwasombodde abatuuze abaayise poliisi n’etwala omulambo mu ggwanika e Mulago okwongera okugwekebejja.

Akulira okunoonyerezza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Matugga, Chris Bazimbwa yalabudde abantu ku kwagala okugaggawala amangu nga kino kiviiriddeko abavubuka bangi okuggwaamu essuubi ne bakola emize ng’okunywa enjaga n’okwetta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...