TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'etteete okulwanyisa ensowera, enkwa n'ensiri

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'etteete okulwanyisa ensowera, enkwa n'ensiri

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'etteete okulwanyisa ensowera, enkwa n'ensiri

Kis1 703x422

Etteete nga bwe lifaanana.

ETTEETE liriko ebyafaayo mu Uganda, ba jjajjaffe baalikoomeranga mu biraalo by’ente okugoba ebiwuka, okusogola omwenge, okulyalirira mu nnyumba okukola ng’ekiwempe, mu masabo n’amasinzizo namwo baalikozesanga.

Abazungu nabo baagenda mu maaso ne balikamulamu butto gwe baatuuma ‘citronella’ era muligula mu maduuka ag’enjawulo. Naffe aba Pro Biorearch okumukamula butto olw’emigaso gino; lAyamba ku biwuka ebitulumba okuli ensowera nga okuzigoba okukoleeza omusubbaawo okuli butto ono ne zigenda, ebiyenje, ensiri nga ssinga weesiiga butto ono ensiri tezikuluma.

lButto akkakkanya ebirowoozo naddala mu bakyala abagenda okuzaala, ne kibayamba puleesa obutalinnya. Omukyala agenda okuzaala amutonnyeza mu katambaala n’amunuusa ne kimuyamba okukkakkana ebirowoozo, akola ne mu mbeera endala. lAkola okugoba kkapa mu nnyumba, olumu zigenda ne zikomberera ebintu ekivaako ababikozesa okulwala.

lAyamba okugoba enkwa ne kawawa ku nte, abalunzi batawaana n’eddagala ly’enkwa effu. Zirwaza ente n’abantu, naye bw’ofuuyira ente butto ono enkwa zigenda, ky’ova olaba embogo ezirya ku tteete tezitera kulumbibwa nkwa.

Butto ayamba okugoba olusu, kubanga azibukula obutuli bw’omubiri, abawunya enkwawa abakolera. lAyamba okutta ebiwuka mu bantu n’ebisolo. Omuntu omuteeka mu mazzi agabuguma ate ensolo n’oziteera amatondo 20 mu liita 20 ez’amazzi.

lButto ayamba okutta akawuka akalwaza amannyo kasita omuyumunguza mu kamwa. Pulezidenti Museveni yaleetako ne pulojekiti y’etteete okukola eddagala ly’amannyo naye ne batabifaako nnyo.

lBw’ogatta butto mu sampo n’onaaba mu nviiri, teziwunya, tezikusiiwa ate tofuna situka. lSsinga olisimba mu nnimiro ligoba obuwuka, alima ennyaanya lisimbemu lijja kutta obuwuka obuzirya emirandira. lButto ayamba abantu abatuyaana ebigere n’abigema n’obutawunya.

lAtawaanyizibwa obulwadde bw’ennyingi, butto w’etteete ayozaamu asidi mu nnyingo. Ate ayamba ekinywa ekikutte okuta ssinga omwesimuula. lAyoza engoye osobola okutabula butto mu mazzi g’oyumunguzaamu engoye n’oggyamu olusu olubi.

lAbalina ensundo ozisiigako ne zikendeera n’oluvannyuma ne ziviirawo ddala. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...