TOP
  • Home
  • Agawano
  • 'Abasika mukomye okwezza ebintu by'abagenzi'

'Abasika mukomye okwezza ebintu by'abagenzi'

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2018

Paasita Luciano Ronald Kivumbi owa Real Liberty Church, Luteete awadde amagezi abasika okukomya okweza ebintu by’abagenzi.

Goba1 703x422

Paasita Kivumbi ng'asabira omuwala eyasikidde omugenzi Aidah Nakimera

Bya Evelyne Nalule

Bino abyogedde asabira n’okusaako omusika wa Aidah Nakimera mu maka ga Fred Kaddu Mukasa e Luteete ku luguudo lw'e Gayaza n'agamba nti abamu ku basika balowooza nti obusika kitegeeza kugwa mu bintu era ne bakomekeraza nga tebatuukiriza buvunaanyizibwa bw’obusika ekibaviirideko okutuusibwaako obulabe ng’okutemulwa, n’ebirala.

Alambulude nti, omusika asikira buvunaanyizibwa bw’omugenzi okugeza; okwongerayo bizinensi z’omugenzi n’okulabirira abantu omugenzi beyalinako obuvunaanyizibwa.

Akinoganyiza nti ebintu by’omugenzi okugeza; kitaawo oba nnyoko bigabanyizibwa kyenkanyi mu baana beyazaala.

Ku mukolo gwe gumu,Kivumbi ajjukiza abantu nti kunsi kuno tuli bagenyi n’olwekyo kiba kirungi okulekawo omukululo omulungi tuleme kubeera nga Adam kubanga buli amwogerako agamba nti yaleeta ekikolimo munsi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte