TOP

Embeera ya Nambooze tennalongooka

By Musasi wa Bukedde

Added 21st June 2018

EMBEERA y’omubaka Betty Nambooze Bakireke ekyali mbi, abamujjanjaba bwe bategeezezza nti akyalina obulumi olw’ekizibu kye yafuna era bbo bakyalemedde ku kumutwala e Buyindi ayongere okujjanjabibwa.

Now 703x422

Nambooze ng’assiddwa mu kyuma okukeberebwa.

Eggulo bamuzzizzaayo mu kyuma ne bamukuba ebifaananyi ebiraga embeera y’ekyuma kye baamussa mu mugongo bwe kifaanana era bba Bakireke yategeezezza nti mukyala we tannaba kutereera kubanga talina bujjanjabi bwa njawulo bw’afuna mu ddwaaliro ly’e Kiruddu.

“Embeera twabagamba dda nti yeetaaga kutwala Buyindi nga lipooti y’omusawo bwe yalaga kyokka abaserikale bamulemedde. Kino ekikolebwa kubonyaabonya mubaka naye amazima akyawulira obulumi bwa maanyi,” Bakireke bwe yagambye.

Embeera ku kasenge k’eddwaaliro ly’e Kiruddu, Nambooze gy’ajjanjabirwa ekyali ya bunkenke ng’abaserikale abali mu ngoye ezaabulijjo be bamuvunaanyizibwako era tebamala gakkiriza bantu kumulaba wadde bannamawulire okuyingizaayo kkamera.

Aba Famire y’omubaka beekengedde nti poliisi byonna by’ekola eyagala kutwala mubaka mu kkooti kyokka obulwadde bukyabalemesezza.

Akulira eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba Baterana yategeezezza nti tebasobola kumala gakkiriza mubaka kutwalibwa Buyindi kubanga obulwadde babusobola era baamuteekako abasawo abakugu mukaaga abatunuulira obulamu bwe essaawa 24.

Kyokka balooya ba Nambooze aba Lukwago and Co. Advocates baawandiikidde akulira akakiiko akakola eddembe ly’obuntu ne bamusaba akozese amateeka akyalire Nambooze naye yeerabireko embeera embi gy’alimu.

Lukwago yategeezezza nti Poliisi eremedde Nambooze ate nga mulwadde ky’agamba nti kimenya amateeka ate nga palamenti yamukkiriza dda okuddayo e Buyindi okulaba abasawo abaamujjanjaba n’okuddamu okumwekebejja.

Nambooze ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Kiruddu eriri wansi wa Mulago era baamuzza ku mwaliiro ogwomusavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa1 220x290

Omuwala omulala bamuwambye ne bamutta...

OMUWALA omulala azuuliddwa ng’attiddwa mu bukambwe omulambo gwe ne bagusuula okumpi n’omwala e Namasuba mu Kikajjo....

Papa 220x290

Maama Fiina agulidde Abasiraamu...

ABASIRAAMU baweereddwa amagezi okukomya okulowooleza mu kulwanagana ng’engeri yokka ey’okumalawo obutakkaanya nga...

Stella 220x290

Stella Nyanzi agobye abamweyimirira:...

STELLA Nyanzi yeecwacwanidde ku kkooti ya Buganda Road n’agaana mikwano gye n’aba famire ye okuddamu okumweyimirira...

Funayo1 220x290

Abawaabi ba Gav't beegayiridde...

ABAWAABI wa gavumenti mu musango gwa Kitatta beegayiridde kkooti y’amagye e Makindye esingise Kitatta ne banne...

Goba 220x290

Emisota gigobye Pulezidenti wa...

EBYEWUUNYISA tebiggwa mu nsi. Emisota egyagobye Pulezidenti wa Liberia, George Weah mu ofiisi nakati gikyatabudde...