TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Amafuta ga poliisi naganywa nkola mirimu gyayo - Hajji Kiyimba

Amafuta ga poliisi naganywa nkola mirimu gyayo - Hajji Kiyimba

By Joseph Mutebi

Added 21st June 2018

MEEYA w’e Kyengera Hajji Abdul Kiyimba akkirizza nga bwe yanywa amafuta ga poliisi ng’akola emirimu gyayo.

Kiyimba 703x422

Hajji Kiyimba

“Nze nakoma okunywa amafuta ga poliisi ng’omugenzi Kaweesi akyaliwo era yagampanga mu kiseera kye yali yampeera obuvunaanyizibwa okuzimba ekisenge ekiteesezebwamu ku poliisi y’e Katwe n’e Kabalagala,” Kiyimba bwe yategeezezza.

Yayongeddeko ni teyakoma kuzimba poliisi ezo zokka wabula yazimba n’ey’e Nsangi era nga mu mirimu gyonna ye yali akuh− haanya obuyambi n’okusomba amatoffaali, amayinja n’omusenyu era amafuta gaakolanga mulimu guno gwokka.

Yagambye nti kuno yagattako n’okugula ettaka ku bukadde 40, ku ssente ze ng’omuntu e Lwengo n’aliwa poliisi n’atoola n’obukadde obulala 56 n’azimba poliisi eno kubanga gye bamuzaala era bwe yali ewedde n’agikwasa poliisi.

Gen. Kayihura yennyini ye yagitongoza. “Era Museveni yalagira ne Kayihura ne bantwala e Soroti ‘nampa omudaali olw’okukolerera poliisi.

Awo simanyi oba baali bansiima kunywa mafuta oba kugikolerera. Nze ndi mwetegefu okwanukula ku by’amafuta kubanga bye nakolera poliisi weebiri.”

Yagambye nti, “Kayihura bw’aba alina ebizibu bye ng’omuntu tumusabire kubanga y’amanyi ebibye. Era nze nakoma okukolagana ne Kayihura emyaka ng’esatu emabega bwe yayimuka mu lujjudde lw’abantu e Kibuli ku muzikiti n’agamba nti tammanyi nange ne muvaako.

Era hhenda okuddamu okumusisinkana n’amusanga mulumbe lwa Kaweesi e Kulambiro n’e Lwengo era okuva olwo siddangamu wadde okwogera naye.

Wabula ekisinze okunnuma eggulo (Lwakubiri) nabadde naakava mu lukiiko olwatuleeta n’omumyuka wa Mufti owookubiri, e Boston mu Amerika ne nfuna amawulire nga gagamba nti Hajji Kiyimba bamukutte ng’ali ewa Hajji Moses Kigongo e Maya bw’akubye essimu ewa pulezidenti nti Kiyimba ali wano n’amulagira bankwate bangatte ku Kayihura ekitali kituufu.

Nze mbadde waakudda wiiki ejja kubanga mbadde nnina ab’okusisinkana mu Amerika okutema empenda ngeri ki Kyengera Town Council bw’eteekebwa ku maapu. Naye byonna mbisazizzaamu.

Ku Lwomukaaga essaawa 6:00 ez’emisana nja kuba ntuuse ku kisaawe e Ntebe. Alina by’ayagala okumbuuza nja kumusanga awo.”

Kiyimba okuvaayo okutangaaza ebigenda mu maaso kiddiridde olukalala lw’abantu abamu okufulumizibwa nga balumiriza ne Kiyimba okunywanga amafuta ga poliisi. Era nga kuno kuliko n’omu ku bameeya ba munisipaali y’omu kibuga Kampala era nga essaawa yonna bagenda kulabikako ku poliisi e Kibuli babitebye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Maama afudde n’abaana be

Maama afudde n’abaana be

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Abamukubantuabeetabyekumukologwokutongozaenkolayapulezidentieyemyoogaemasaka2 220x290

Bakalaatidde abakulembeze okuggya...

Mu nkola eno abakozi b’emirimo egifaanagana baakwekolamu ebibiina by’obwegassi n’okutereka ensimbi nga bino gavumenti...